TimbisoboleAgambibwa okutta bba e Kyegegwa mu 2016 akwatiddwa ku Kaleerwe

By Musasi wa Bukedde

TimbisoboleAgambibwa okutta bba e Kyegegwa mu 2016 akwatiddwa ku Kaleerwe

Hot2 350x210

POLIISI y’oku Kaleerwe ekutte omukazi gwe balumiriza okutta bba mu 2016 omulambo n’aguleka mu nju nadduka n’abaana baabwe bataano n’obukadde 4, ng’entabwe yava ku musajja kuwasa mukazi mulala.

Sylvia Katuharwe 40, abadde yasenga Gayaza-Bira mu Wakiso wabula yakwatiddwa Poliisi y’oku ku Kaleerwe ku Lwokubiri oluvannyuma lw’aba famire ya bba, Vincent Timbisobole, gwe yalinamu abaana bataano okumulondoola okutuusa lwe yakwatiddwa.

Aba Famire bamulumirizza okwekobaana n’abakozi be yatwala awaka mukaaga abaamutta nga bamufumitafumita ebiso mu bulago ne bamukuba ennyondo ku mutwe omulambo ne baguleka mu nju ng’abatuuzebaakitegera wayiseewo ennaku bbiri nga Katuharwe amaze okugenda n’abaana bonna.

Kyokka Katuharwe yeegaanye omusango n’alumiriza abakozi nti be batta olw’obutabasasula ssente zaabweTimbisobole yali mutuuze ku kyalo Migongwe mu ggombolola y’e Kyegegwa nga ye yali nnanyini ssomero lya St. Vincent Memorial School.

Joseph Byenkya muganda w’omugenzi yategeezezza Bukedde ku ssimu nti Katuharwe abasajja abaamuyambako okutta bba yabaleeta awaka n’abanjulira bba ng’abakozi abagenda okusimba kalittunsi nga yabaggya Kanungu gyazaalwa kumbe lwe lwali lukwe lwa kumutta, era ye teyaziika ng’adduse. Omusango baaguloopa ku poliisi y’e Kyegegwa ku fayiro nnamba CRB 741/2016.