Bajjo oluyimbiddwa asoose kusaba mmeere

By Martin Ndijjo

Bajjo oluyimbuddwa okuva e Luzira asibidde mu kirabo kya mmere kweggyako njala y'e kkomera

Baa0 350x210

NGA tanatuuka na waka kumunaaza ko bisiraani bya kkomera, Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo owa Bajjo Events asoose ku Magic parking kulya mmere era eno obwedda abamulaba nga atudde ku sowaani y’emmere bogera kimu “wama mwana sooka weggyeko enjala y’e Luzira...”

Bajjo munnakisinde kya ‘People Power’ amaze omwezi mu kkomera e Luzira ku misango ebiri okuli: ogw’okukuma omuliro mu bantu n’okwogera ebigambo ebigendereddwaamu okunyiiza omukulembeze w’eggwanga,

 ajjo ngalya emmere Bajjo ng'alya emmere

Ayimbuddwa leero omulamuzi Stella Amabirisi owa kkooti ya Buganda Road ku kakalu ka Bukadde 4 ate abamweyimiridde okuli Abby Musinguzi (Abitex), Moses Bigirwa ne Matovu Junior balagiddwa okusasula obukadde 20 buli omu ezitali za buliwo.

Mu kwogerako eri bannamawulire ono asoose kwebaza bantu abamubereddewo ng’enjogera y’ennaku zino oluvannyuma ategezezza nga okumusiba bwekitagenda kumujja ku mulamwa gw’okulwanirira eddembe lye ne Bannayuganda abalala

 ajjo ne ullfigure Bajjo ne Fullfigure