Vision Group yaakukumalako ennaku mu Ekyepukulu Ani Asinga 2019

By Musasi wa Bukedde

Olwa August 4 terukusubwa anti Vision Group ne Bukedde bakutuusaako ekivvulu ekituumiddwa Ekyepukulu Ani Asinga 2019 ekijjudde ebbinu

Ekyepukuludavidlutalomyday1awebuse 350x210

Bya Musasi waffe

ABATEGESI b’ebivvulu Abbey Musinguzi owa Abtex Promotions ne Ssaalongo Mukasa owa Bajjo Events beegasse ne baleeta ebbinu lya 2019 erituumiddwa ‘‘Ekyepukulu Ani Asinga 2019’’.

Abtex yategeezezza nti ekivvulu kino kigenda kubeera mu kisaawe e Wankulukuku nga August 4, 2019 ng’era enteekateeka zonna ziri mu ggiya nnene. Nga bulijjo, tugenda kubeera n’abayimbi bakafulu mu kukuba omuziki ne bakazannyirizi. Abasajja bakulembeddwaamu David Lutalo nnannyini muziki gwa laavu ate abakazi ne bakulemberwa Sheebah Karungi ng’era wajja kubaawo n’okuvuganya wakati w’abasajja n’abakazi ng’abawanguzi baakuweebwa engule.”

 heebah arungi naye waakubaayo Sheebah Karungi naye waakubaayo

 

Abtex agamba nti ekivvulu kino kirimu ebinnonnoggo ebirala bingi okuli:

lOkulangirira omusajja asinga obuwanvu mu ggwanga okufuna omusika wa Ofwono. Asabye bonna abeekakasa obuwanvu okujja mu Kyepukulu gye bagenda okusalira empaka.

lBagenda kulonda Ssebabi wa Uganda omulala okutandika ekisanja eky’emyaka etaano newankubadde aliko akyakalambidde ng’awoza nti ye takubwako kalulu okutuusa ng’afudde.

lWajja kubaayo empaka z’abaana abaavula ng’omuwanguzi waakufuna 700,000/-, owookubiri 500,000/-300,000/- ate owookuna 200,000/-. Abtex agamba nti omwana ono ateekwa okuba ng’ayavula ate nga bw’omuyita ategeera kyokka omukisa gujja kuweebwa abo bamaama abanaakeera mu kivvulu.

lOkwawukanako n’ebivvulu ebizze bibeerawo, Abtex ne Bajjo be bagenda okukola obwa MC. Okuyingira 10,000/-. Ekivvulu kino kiwagiddwa Vision Group efulumya ne Bukedde.