Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga abantu 17

By Musasi wa Bukedde

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako era olwakalaba ne nzirukira e Kabale. ‘Yala’ (ebbula lya ssente) bwe zankubye ne nsalawo nkomewo e Kampala ‘nneeyiiye’ nga ndowooza embeera ekkakkanye, naye ne ngwa mu mbi!

Tta 350x210

OMUSAJJA gwe balumiriza nti ye yalabikira mu katambi ng’atuga owa bodaboda, bamwogezza engeri gy’azze atta abavuzi ba pikipiki.

Wakati mu kumubuuza akana n’akataano, abaserikale kyabaweddeko ng’abategeezezza nti ekibinja mw’akolera kyakatta abantu 17 era abasinga babattidde mu Kampala, Wakiso ne Mukono.

Olwamaze okumukwata aba poliisi ne bamubuuza nga bw’abaanukula. Omu ku ba poliisi yattottoledde Bukedde engeri omuvubuka ono bwe yabaanukudde bye baabadde bamubuuza. Yabadde abaanukula akozesa Luganda kyokka nga bw’agattamu ‘Oluyaaye’

Poliisi: Amannya go ggwe ani?

Omusibe: Nze John Bosco Mugisha naye babadde basinga kumpita Mukiga.

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa?

Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako era olwakalaba ne nzirukira e Kabale. ‘Yala’ (ebbula lya ssente) bwe zankubye ne nsalawo nkomewo e Kampala ‘nneeyiiye’ nga ndowooza embeera ekkakkanye, naye ne ngwa mu mbi!

Omuvubuka ono yakkirizza nti y’alabikira mu katambi era n’ategeeza abaserikale nti ye yatuga Derick Mulindwa e Lubaga mu Kampala era oluvannyuma munne gwe yayogeddeko nti, yeekazaako erya Mulo Young (atali muyimbi) n’akuba Mulindwa ekyuma ku mutwe n’amumaliriza era pikipiki ne bagitwala.

Yagambye nti baanyiiga nnyo nga balabye akatambi akaasaasaana era abadde aluka lukwe lulala olunoonya omuntu gwe bateebereza okusaasaanya akatambi ako nti bamukoleko.

Omuvubuka ono yabadde ayogera talina nsisi yonna era yategeezezza poliisi nti ekibinja kyabwe kyakatuga abavuzi ba bodaboda 17 nga babatwalako bodaboda zaabwe. Baakizudde nti azze ayimbulwa okuva e Luzira enfunda nnyingi gye babadde bamusibira ku misango gy’obubbi.

Yagambye nti bannaabwe abamu abali mu kibinja bazze battibwa era oluvannyuma baakisalira amagezi ne balekera awo okugenda ku siteegi okupangisaawo pikipiki ze banabba, era kye bakola kwe kuyimiriza ezo eziba zitambula naddala ze baba balabye nga mpya.

Beewala okutambula n’ekissi kyonna kubanga baakizuula nti, olumu aba bodaboda bwe beekengera omuntu bamwaza era bwe bamusanga n’ekissi kyonna, obubwe nga bukomye.