Ebintu bya pulasitiika biwambye okuzimba

By Musasi wa Bukedde

EBY’OKUZIMBA biringa misono gya ngoye ebikyuka buli kaseera nga baleeta enzimba empya, eby’okunyiriza n’ebizimbisibwa byennyini byeyubula okusobola okuwa abazimba ekyenjawulo.W'osomera bino nga waliwo abatandise okuzimba ennyumba nga bakozesa ebintu nga enzigi, tayiro, siriingi n'ebisenge bya Pulasitiika.

Plastic1 350x210

EBY’OKUZIMBA biringa misono gya ngoye ebikyuka buli kaseera nga baleeta enzimba empya, eby’okunyiriza n’ebizimbisibwa byennyini byeyubula okusobola okuwa abazimba ekyenjawulo.


Mu kiseera kino abamanyi eby’okuzimba olutuuka ku nnyumba asobola okumanya ebikwata ku nnannyini yo okuli: emyaka gye, ebimunyumira, embeera y’ebyokwerinda eri mu kitundu, embeera y’ebyenfuna n’omuntu atambula n’omulembe.

W'osomera bino nga waliwo abatandise okuzimba ennyumba nga bakozesa ebintu nga enzigi, tayiro, siriingi n'ebisenge bya Pulasitiika.

EBINTU BYA PULASITIIKA BYEYONGEDDE
lBrian Musinguzi omukugu mu kukola tayiro za pulasitiika yagambye nti ekika kino kyangu kya kukozesa ate tezitwala seminti mungi ng’ozisiba mu nnyumba yo.
Zino bazipanga bapange nga zeeyingiramu.


lEnkizo endala kye zirina kwe kubeera ng’osobola okuziteeka ku tayiro endala. Omuntu ne bw’abeera apangisa asobola okuzikozesa n’aziggyamu ng’asenguka.
lEkirungi ekirala tayiro zino zibeera n’akabugumu okusinga tayiro endala ezitera okunnyogoga.Okulongoosa kwangu kuba teziyingiramu mazzi ate tezoonooneka mazzi ne bwe gaba gayiseeko.


lBwe zibeera ziddugadde nnyangu za kunyiriza era tekikwetaagisa kuddamu kusiiga langi awaba waddugadde. Kuno kwogatta n’okubeera nga mpangaazi kuba tezitalagga.
Ebisingawo bisange ku muko gw'Akeezimbira ku Lwomukaaga.