Mwettanire amasomo g'ebyemikono

By Herbert Musoke

OMULAMBUZI w’amasomero mu disitulikiti ya Luweero, Hajji Osiman Kamoga awadde abazadde amagezi okwettanira amasomo g’emikono

Kamoga 350x210

OMULAMBUZI w’amasomero mu disitulikiti ya Luweero, Hajji Osiman Kamoga awadde abazadde amagezi okwettanira amasomo g’emikono okusobozesa abaana baabwe okweyimirizaawo nga bamalirizza okusoma.

Hajji Kamoga bw’abadde ku mwoleso gw’ebyemikono n’ebitono ku ssomero lya St. Kizito R/C, Kalule agambye nti abayizi ennaku zino bangi bava mu masomero nga tebalina kye basobola kukola ng’okubatwala mu masomero g’ebyemikono ky’ekisobola okubayamba okweyimirizaawo mu biseera byomumaaso nga bamalirizza okusoma.

Akulira essomero lino Justine Nakisitu yeekubidde enduulu okubayambako okubazimbira amayumba g’abasomesa n’amazzi agafuuse ekizibu ng’abayizi balina okutambula eng’endo okugafuna ng’omuluka gwonna ogwa Kalule ekizibu ky’amazzi kibali bubi.