'Abakristu mube bagabi'

By peter ssaava

Bwana mukulu w'ekigo ky'e Matugga alumbye Abakristu abakodo nga Katonda abaggonomoddeko emikisa

Tiantanggroup1x 350x210

 
BWANA mukulu w’ekigo ky’e Matugga, Rev Fr. Marek Warzecha alumbye  Abakristu abakodo n'asaba bulijjo abalinawo babeenga n’omutima omugabi nga baddiza ku batalina kw’ebyo katonda by’abawadde.
 
Warzecha yabyogeredde mu mmisa gye yakulembeddemu ku klezia ya St. Immaculate Catholic e Kitakuta-Matugga, ku Ssande omwabadde n’okusondera ssente ez’okumaliriza okuzimba Klezia yaawo. 
 
Warzecha yagambye nti abantu bangi Katonda abawadde ssente ze beetaaga naye olw'obukodo ne batabaako be bayamba babali kumpi newankubadde okutoola ku mirimu gya Katonda nga gwe baliko okuzimba Klezia y'ekitundu ogukolebwa kati..
 
Mu mmisa, aba kkampuni ya Tian Tang baddukiridde omulimu n’obukadde 10 kyokka era ne basuubiza n’okwongera ku buyambi obwo. Badduukiridde n’abakadde n’abateesobola n’ebintu okwabadde emifaliso, butto, ssabbuuni n’ebirara.