Poliisi erabudde ab'amawulire

Omukwanaganya wa Poliisi n'abantu e Mukono, Moses Mugwe anenyezza ab'amawulire olumu okuyita we bandikomye ne balinyirira ne ddembe lya bannabyabufuzi okubalingiriza ku bulamu bwabwe obw'ekyama.

 Abamu ku beetabye mu nsisinkano eno

Omukwanaganya wa poliisi n'omuntu waabulijjo mu Mukono, Moses Mugwe alabudde ab'ebifaananyi n'abamu ku b'amawulire abagufudde omugano okutyoboola eddembe ly'abakulembeze n'okuyingirira obulamu bwabwe obw'ekyama okukikomya.
 
Yasinzidde mu lukiiko olwategekeddwa ku Golden Crane Gardens okukyusa obukulembeze bw'abakubi b'ebifaananyi mu disitulikiti y'e Mukono, Buikwe Kayunga n'ebitundu ebiriraanyeewo.
 
Yeetabiddwaako abamu ku bakulembeze ba disitulikiti y'e Mukono. Wabula n'ebeebifaananyi beemulugunyiza eri  Mugwe olw'abaserikale okubakubanga emiggo ekiro nga bava ku mirimu n'okubamenyera densite zaabwe.