Ekiragiro kya Keneth Muhakanizi kitabudde abasuubuzi

By Musasi wa Bukedde

Ekiragiro kya Keneth Muhakanizi kitabudde abasuubuzi

Lip1 350x210

OKUSASULA kkampuni ezaawa Gavumenti ya South Sudan emmere kusannyaladde akulira eggwanika Keith Muhakanizi bw’alagidde baddemu okwetegereza kkampuni zonna.

Kino kitabudde abasuubuzi ne beekubira enduulu mu KACITA nga bagamba nti waliwo olukwe okubafiiriza ssente ate ng’okubasasula kumaze ebbanga ddene.

Abamu ku basuubuzi badduukidde mu kkooti eyawadde ekiragiro okuyimiriza okuddamu okwetegereza kkampuni nga bagamba nti bagenda kuddamu bafiirwe. Omwogezi wa KACITA yagambye nti Gavumenti okutuuka okusasula abantu erina okuba nga yasooka kukola kunoonyereza nga tewali nsonga lwaki bagaana okusasula