Enteekateeka z’omusomo gwa Ssenga ziri mu ggiya

By Musasi wa Bukedde

Enteekateeka z’omusomo gwa Ssenga ziri mu ggiya

Tip2 350x210

KOJJA Kevin Ggita Muwoomya annyonnyodde ensonga lwaki omusomo gwa Ssenga wa Bukedde kyayongerwako ekigambo ‘Konaawo.’ Kevin nga y’omu ku bakojja abaatiikiridde essaawa eno ng’agenda kukola ne bassenga omuli Justine Nantume gw’oyinza okuyita ow’ekyasa, Hamida gw’oyinza okuyita ow’ensi yonna ne Edith Mukisa ‘kafulu’, yabadde mu lukuhhaana lwa bannamawulire ku kitebe kya Vision Groupevunaanyizibwa ku Bukedde famire eggulo n’attottola bw’ati; Okugattako ebigambo ‘Koona wano’ tetwayagadde kutegeeza kintu kirala okuggyako okutegeeza omuntu nti omwagalwawo mukoonyese laavu emutuuke mu mutima, olwo omukoone embaga akutegeere nti ddala omwagala.

Yagenze mu maaso nti; Mujje mu musomo nga mwetegese okuyiga ebintu bingi ebikoona bannammwe muddeyo awaka nga temukyalina kye mwetaaga okuggyako okuloola.

Omusomo gugenda kubeera ku Freedom City ku Lwomukaaga nga August 31, 2019 okuyingira 10,000/- zokka ng’emiryango giggulwawo ssaawa 2:00 ez’okumakya okutuusa eyo gye munaakooyera.

Abategesi b’ekibbiitu kino aba Vision Group abaayambiddwaako omutunzi w’ettaka, Mohammad Kamoga owa Kamoga Property Consultants nga bakulembeddwaamu omuteesiteesi w’ebivvulu bya Vision Group, Fiona Tamale, baategeezezza nga bwe bamaze byonna ebyetaagisa ekivvulu okubaawo omuli ebyokwerinda, ebisanyusa, eby’okusomesa abantu ne kalonda omulala nga balinze bacakaze, abasomi n’abantu abalala abagenda okwetaba mu musomo guno.

Annet Nakate nga ye mukuhhaanya wa Ssenga wa Bukedde era omu ku bateesiteesi b’ekibbiitu kino yasabye abantu okujja nga beetegese okuwangula ebirabo by’ataayogedde wabula nga n’engeri gye bagenda okubiwangula bagenda kubirabira ku Freedom City naddala abanaatuuka mu budde bajja kwanguyirwa okuwangula.

Yasoose kutegeeza nga bwe wagenda okubeera ebyokuyiga enjolo omutali bya laavu yokka naye n’obuyonjo mu maka, obukkakkamu, ekitiibwa ky’amaka, enkuza y’abaana n’ebirala. Mohammed Kamoga eyabadde ne mukyalawe, Wasirah Kamoga ng’ono y’omu ku Hakki ze bwe bakola mu ofiisi e Lubowa, yasabye abantu bajje ye kennyini abasomese eby’okugaggawala nga bakuuma ettaka lyabwe n’engeri y’okugula ettaka okuzimba amaka.

Enteekateeka Omukozi wa Bukedde Fa Ma ne Bukedde ttivvi, Godfrey Kigobero omu ku bagenda okuba bakalabaalaba b’omukolo yategeezezza nga ssenga omu bw’anaata akazindaalo olwo ng’akakwasa omulala nga bwe bagattamu ne bakkojja. Ebyo bigenda kuba bigenda mu maaso nga n’abayimbi nga Catherine Kusasira bwe bacamula abantu olwo ekibanyi kigwe n’amenvu.