KibuuleEddwaaliro ly’e Kitanda liri ku ‘kitanda’

By Musasi wa Bukedde

KibuuleEddwaaliro ly’e Kitanda liri ku ‘kitanda’

Sam1 350x210

ABALWADDE n’abajjanjabi mu ddwaaliro lya gavumenti erya Kitanda Health Center III e Bukomansimbi balajaanidde gavumenti ebayambe ku mbeera embi eddwaaliro gye lirimu.

Abalwadde abaasangiddwaayo baategeezezza bwe liri mu mbeera eyennyamiza naddala ku ludda abakyala we bazaalira ng’abasinga bazaalira ku ttaka. Ng’oggyeeko obutaba n’abitanda, abalwadde era bagamba nti eddwaaliro teririna bikozesebwa mu kuzaazisa, omuli ebyuma ebiyambako abaana okussa n’abo abazaaliddwa nga tebatuuse ekibawaliriza okubasindika mu malwaliro amalala nga e Masaka ne Kitovu.

Eddagala mu ddwaaliro lino lya kkekwa ng’ebiseera ebisinga abasawo babawandiikira eddagala ne babalagira okuligula mu bulwaliro obw’obwannannyini lye bagamba nti balibaguza ku buseere. Evelyn Naggayi nga muzaazisa yagambye nti basanga okusoomozebwa bwe wabeerawo abakyala abasoba mu omu.

Akulira eddwaaliro lino, Dr.Timothy Wasswa yagambye nti eddwaaliro embeera gye lirimu mbi nga batya n’okukubiriza abakyala okujja okuzaalira mu ddwaaliro olw’embeera yaalyo.

Ssentebe wa disitulikiti eno, Muhammad Kateregga yategeezezza nti omuwendo gw’abakyala abazaalira mu ddwaaliro lino bwe gweyongeddeko era disitulikiti yaakukola kyonna ekisoboka okulaba nga babafunira ebitanda n’okubazimbira ekisenge mwe bazaalira.