Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi gye livaako endwadde n’obwavu

By Dickson Kulumba

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba nti abakulembeze ku mitendera gyonna basaanye okussa essira ku kumalawo ebbula lyago okwewala okusaasaanya obwavu n’endwadde.

Mayiga 350x210

Bya DICKSON KULUMBA
 
KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba nti abakulembeze ku mitendera gyonna basaanye okussa essira ku kumalawo ebbula lyago okwewala okusaasaanya obwavu n’endwadde.
 
Bino yabyogeredde Bulange- Mmengo ku Lwokuna bwe yabadde asisinkanye
ab’ekitongole ekiyitibwa Wells Of Life nga bano batta omukago n’Obwakabaka
bwa Buganda okubunyisa amazzi mu Buganda era bazze okwongera okwogerezeganya ne Katikkiro ku ngeri emirimu bwe gitambula.
 
“ Ekimu ku bizibu ebivaako obwavu lye bbula ly’amazzi kubanga atalina mazzi tasobola
kuba muyonjo era atali muyonjo aba mulwadde ate omulwadde tasobola kukola ate bw’otakola oyavuwala,” Mayiga bwe yagambye.
 
Katikkiro Mayiga yagambye nti bannamukago bano bagenda kusima enzizi za
nnayikondo mu masaza ga Buganda era n’akubira abantu okuzikuuma n’okuzirabirira obutiribiri zisobole okutuukiriza omulamwa gw’okugoba ebbula ly’amazzi mu bitundu ebyo. “ Bagenda kusima nnanyikondo era batandikidde mu masaza okuli Ssingo ne
Buweekula.
 
E Mityana mu Ssingo bagenda kuzimbawo ettendekero erigenda okutendeka abasima, abalabirira n’okuddaabiriza nnayikondo zino.
 
Tukubiriza abantu okuzirabirira obulungi kubanga kyekyo ekirabo Kabaka ky’abawadde,” Mayiga bwe yagambye n’ategeeza nti ebbanga ly’enkolagana eno we linnaaggweerako ng’ekizibu ky’amazzi kisaliddwa amagezi.
 
Abagenyi bano abaakulembeddwaamu Nick Jordan, akulira emirimu mu kitongole kino yategeezezza nti balina essanyu n’okwenyumiriza mu nkolagana yaabwe n’Obwakabaka gye basuubira nti yaakuvaamu ebibala bingi.