Abayimbi Bannayuganda battunse n'Abajamaica mu kukuba emiziki

By Martin Ndijjo

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Pp 350x210

BANNAYUGANDA bannyumiddwa emiziki gy’Abajamica: Christopher Martin ne D-Major mu kivvulu kya ‘Bell All Star Concert’ ekyabadde e Lugogo ku Lwokutaano ekiro.

Ng’oggyeeko okucamula abadigize n’emiziki gye baabakubidde, nabo baanyumiddwa Uganda ennaku ze bamaze kuno olw’ebyana obwedda ebibasoomooza n’ennyambala.

D - Major ye yasoose okugamba nga Uganda bwemunyumidde era ayagala kufunamu ennyumba gafuuke amaka ge ag’okubiri ate Christopher Martins obwedda ayimba asiriikirizaamu nga bw’ayogera Oluganda olw’ebitege n’okuwaana abawala Bannayuganda.

Ng’oggyeeko omulamwa gw’abategesi b’ekivvulu kino ogw’okuwa bamusaayimuto akadaala okwolesezaako ebitone byabwe, wabadde oyinza okulowooza bali mu mpaka z’ani asinga okukuba emiziki wakati w’abayimbi baakuno n’Abajamica.

Abayimbi baakuno okuli; Spice Diana, Sheebah, Winnie Nwagi, Fefe Busi, John Blaq, Vinka, Kenneth Mugabi, Fik Fiemica, Choozen Blood, Kenneth Mugabi n’abalala be basoosewo era bano wabadde oyinza okulowooza bali mu mpaka z’ani asinga okuyimba wadde nga abamu batawanyiziddwa nnyo okuyimba ‘layivu’. 

Oluvannyuma D-Major yalinye ku siteegi ku ssaawa 5:00 ez’ekiro ono olwavuddeko Christopher Martin yakigadde.