Gen. Moses Ali asiimye enteekateeka ku by’entambula

By Musasi wa Bukedde

ENTEEKATEEKA ya gavumenti ey’okutumbula eby’entambula mu ggwanga omuli okuzzaawo ennyonyi z’eggwanga, okwongera okukola enguudo za kkoolaasi, okuzzaawo entambula ya tuleyini, entambula y’oku mazzi nga bongera ku bungi bw’ebidyeri binokoddwaayo ng’omu ku kaweefube akoleddwa okukyusa embeera za Bannayuganda.

Funayo1 350x210

Gen. Moses Ali, omumyuka owookubiri owa Katikkiro w’eggwanga asiimye enteekateeka eno n’agamba nti ebyentambula olw’okuba gwe mutima gw’eggwanga y’ensonga lwaki gavumenti ebitaddeko essira.

Bino yabyogedde aggulwawo olukuhhaana olw’omulundi ogwa 15 olukwata ku byentambula mu ggwanga mwe batemera empenda ku bye balina okukola ne bye batakoze n’okusoomoozebwa kwe bayitamu.

Minisita w’ebyentambula n’enguudo Monica Azuba yagambye nti ennyonyi endala bbiri ezikyasigaddeyo zaakutuuka mu myezi ebiri.