‘Fresh Jjajja’ akyalimu endasi

By Musasi wa Bukedde

TULINA Fresh Kid ne Fresh Daddy. Wadde Fresh Mummy akyabuze, Muzeeyi Bakiddaawo ayingizzaawo Fresh Jjajja.

Jajja 350x210

Owoolugambo waffe atugambye nti omukadde ono Presica Martha Nakawombe kati eyeeyita ‘‘Fresh Jjajja’ abadde yeegulidde erinnya mu kusanyusa abantu ku mikolo gy’okwanjula n’embaga wamu n’okubeera mu vidiyo z’abayimbi ng’era mukugu mu kunyeenya ekiwato.

Bwatuuka ku gano amazina g’abavubuka ag’okukka n’okwambuka oyinza okulowooza nti taliimu ggumba.

Kati Bakiddaawo olumulabyemu ekitone kino kwe kumutwala mu situdiyo ne bakola oluyimba lwe batuumye ‘‘Gunsitudde’’ ng’agamba nti akooye abayimbi okumulyako ssente ng’ekitone akyewulira.

Nakawombe yaliko omuserikale wa poliisi gye yava n’akolako mu UTODA nga ‘‘Ttulafi ki wadeni’’ bwe yawummula n’adda mu kyalo okulima.

Eno Bakiddaawo gye yamulonda ng’amulabyemu ekitone n’amukomyawo e Kampala ng’ennaku zino afuuse ensonga mu kusanyusa abantu ku mikolo.