Rema ategese obukadde 200 ez’omukolo gw’okwanjula

By Martin Ndijjo

REMA Namakula wa kusaasaanya ensimbi ezikunukkiriza mu bukadde 200 ng’ayanjula bba Hamzah Ssebunya mu bakadde be.

Untitled1 350x210

Ssentebe w’olukiiko olutegeka omukolo guno, Hajji Isa Musoke yagambye nti ssente zino obukadde 200 ziyinza okukendeera oba okweyongera ssinga obukiiko obw’enjawulo bunaamala okwanjula embalirira yaabwo yonna n’egattibwa wamu okutegeera ensimbi ezetaagisa ku mukolo gwonna.

Ku bukiiko obwateereddwawo kuliko akavunaanyizibwa ku by’emmere, okusanyusa abagenyi, okwambala kw’omugole ne kalonda omulala ng’omukolo gw’okwanjula bwe guteekeddwa okuba.

“Rema y’omu ku bakwata ekifo ky’oku mwanjo mu bassereebu abaagala ebintu aby’ebbeeyi y’ensonga lwaki omukolo agutaddemu ssente nnyingi nnyo’, Hajji Musoke bwe yategeezezza.

Abantu abasinga abaaweebwa obuvunaanyizibwa bamaze okuwaayo embalirira yaabwe nga wasigaddeyo abavunaanyizibwa ku by’okulya n’okutimba.

Okwanjula kusuubirwa okubeerawo nga November 14, 2019 era mikwano gya Rema egy’oku lusegere omuli ne bayimbi banne baafunye dda kaadi ezibayita ku mukolo.

Musoke era yategeezezza nga Rema bwe yalinnye ennyonyi eggulo okugenda e Turkey (Butuluuki) gye banaava okweyongerayo e Buyindi bagule ebyambalo n’ebyokwewunda ku mukolo.

Okusinziira ku Musoke, aba Talo Couture Collection be yafunye okumutegeerera mu by’okwambala n’okwewunda.

Omu ku mikwano gya Rema ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza nti okuva Rema ne Ssebunya lwe bakkaanya okukola omukolo gw’okwanjula, Rema ne mikwano gye bawaddeyo obudde okutunuulira okwanjula okuzze kukolebwa okw’amaanyi okuli abaana b’abagagga b’omu Kampala ne bassereebu nga Bobi Wine, Jose Chameleone n’abalala okukakasa nti omukolo guno gumenya emiti.

Musoke yagambye nti omukolo gwa Rema tegujja kubeerako nkiiko za kusonda ssente okuggyako okutuuza enkiiko eziteekateeka omukolo.