Bapulezidenti bagaaniddwa okugenda ku ntaana ya Mugabe

By Musasi wa Bukedde

GAVUMENTI ya Zimbabwe ekalubizza eby’okukungubagira n’okuziika eyali Pulezidenti Robert Gabriel Mugabe.

Mnangagwaandmugabe 350x210

Mugabe waakuziikibwa ku Ssande September 15, kyokka Pulezidenti Emmerson Mnangagwa ayisizza ebiragiro ebikakali ku kukungubagira n’okumuziika omuli n’okulangirira nti tewali pulezidenti yenna gwe bagenda kukkiriza kulinnya kigere ku ntaana ya Mugabe.

Omulambo gwa Mugabe gusuubirwa okutuuka mu Zimbabwe enkya ku Lwokusatu okuva e Singapore gye yafiiridde.

Eddwaaliro lya Gleneagles Hospital Mugabe gy’abadde ajjanjabibwa lye limu ku gasingayo ebbeeyi nga buli lunaku omulwadde asasula ddoola 7,588 mu za Uganda bwe bukadde 20 n’emitwalo 22 buli lunaku.

Mnangagwa yayungudde ttiimu y’abakungu ba gavumenti abaakulembeddwaamu omumyuka wa Pulezidenti Kembo Mohadi ku nteekateeka z’okuzza omulambo e Zimbabwe.

Mugabe yafuga Zimbabwe okumala emyaka 37 kyokka mu November 2017, amagye gaamuggya ku ntebe olwo eyali omumyuka we Mnangagwa n’adda mu bigere bye.

Omulambo gwa Mugabe gwa kutuukira ku kisaawe ky’eggwanga ekya Robert Gabriel Mugabe International Airport mu kibuga Harare ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu ekya ku Lwokusatu olwo okukungubaga n’okumusabira bitandike okutuukira ddala ku Ssande.

Okuva ku kisaawe ky’ennyonnyi, Omulambo gwa Mugabe gwakutwalibwa butereevu mu maka ge ag’omu kyalo agasangibwa ku kyalo Kutama ekyesudde kkiromita 85 okuva mu kibuga Harare gye gugenda okukolwako emikolo egy’obuwangwa.

Ku Lwomukaaga nga August 14, 2019, gwe mukolo omukulu ogw’okusabira Mugabe mu kisaawe gaggadde ekya National Sports Centre mu kibuga Harare era ku mukolo guno kwe kusuubirwa abakulembeze b’amawanga ag’ebweru.

Gavumenti yayisizza ekiragiro ku Mmande nti abakulembeze abaneetaba ku mukolo gw’oku Lwomukaaga, balina okukakasa obugenyi bwabwe ng’ebula ennaku ssatu okubakolera ku nteekateeka.

Abakulembeze b’amawanga abaneetaba ku mukolo gw’oku Lwomukaaga basiddwaako obukwakkulkizo nti balina okutuuka mu Zimbabwe ku Lwokutaano olwo enkeera beetabe mu kusaba era omukolo bwe guggwa buli omu alabe eryamuleese.

We bwazibidde eggulo ku Mmande ng’ekifo Mugabe w’agenda okuziikibwa tekinnakkaanyizibwako.

Gavumenti eyagala kumuziika mu kibangirizi ky’Abazira mu kibuga Harare kyokka aba famire bagamba nti omugenzi yalese alaamye kumuziika ku butaka bwe e Kutama era nti ssinga ekiraamo kye kiziimulwa, ajja kuva e magobe akomewo atuge omuntu.