Poliisi ekutte abadde alimira enjaga ku mabaati

By Moses Lemisa

MEDDIE Mugerwa ow’omu Kibe Zooni mu Muluka gwa Makerere III e Kawempe akwatiddwa poliiis y’oku Kaleerwe oluvannyuma lw’abatuuze okumulumiriza okulimira enjagala ku mabaati. Abaserikale nga bakulembeddwa omumyuka wa OC, Twahir Kasembeza baakutte Mugerwa n’enjaga ne bagiwanulayo ku mabaati waggulu.

Poliisi 350x210

Wadde abatuuze baamulumirizza nti enjaga yiye, Mugerwa yagambye nti ya mutabani wa nnannyini mayumba kyokka oluvannyuma n’akkiriza nti agikozesa nga ddagala lya nkoko. Musa Kakande omutuuze w’omu Ssebina Zooni yategeezezza nti waliwo n’ebifulukwa ebitaliiko mabaati waggulu  mu bitundu by’e Kawempe  ebyasimbwamu enjaga  abagivunaanyizibwako bwe bakwatibwa bagamba ddagala lya nkoko ekitali kituufu .

“Nsaba poliisi esitukireemu wadde waliwo enjaga eva mu byalo naye mu Kawempe mulimu erimu ng’ate  abakulembeze abamu bakimanyiiko …” Kakande bwe yategeezezza. Mugerwa baamugguiddeko omusango gw’okulima enjaga.