Omuwendo gw'abalina amazzi ga taapu mu byalo ne mu bibuga gweyongedde - Lipooti

By Benjamin Ssebaggala

OKUNOONYEREZA okupya kuzudde nti omuwendo gwa Bannayuganda abalina obusobozi okufuna amazzi ga ttaapu gweyongedde mu byalo ne mu kibuga.

Twaweza4 350x210

Ekizibu ekikyalemesezza abantu okufuna amazzi amayonjo ebifo eby’olukale webasobola okufuna amazzi amangu, olugendo oluwanvu oluliwo wakati w’ekifo abantu webabeera n’ekifo awava amazzi.

Marie Nannyanzi owa Twaweza bw’abadde ayanjula lipooti eno ategeezezza nti newankubadde Uganda esobodde okutuuka ku kino, wakyaliwo olugendo luwanvu okutuuka ku kiuubirirwa ky’okutuusa amazzi ga taapu ku buli muntu.

Abantu abali mu byalo kikyali kizibu okufuna amazzi ga taapi ate nga mu bitundu ebimu tewali ddala mazzi mayonjo.

Okusoomoozebwa okulala kuli mu lugendo abagenda okukika amazzi lwe batambula mu bitundu ebimu osanga omuntu ng’atambulira essaawa nnamba okutuuka ku kifo oba oluzzi waalina okugaggya.

Nga bamaze okugafuna era basanga okusomoozebwa okugakozesa nga gatuukiridde okusinziira ku kunoonyereza kuno, amaka abiri (2) gokka ku maka asatu (3) beebasobola okufumba oba okukozesa eddagala erirongoosa amazzi nga tebanna kuganywa.

 

Kino kisinga kulabika mu maka agabantu abeesobola nga balinamu ku kasente. Bali mu bibuga era bakola ebitundu 82 ku 100 n’abo abasobola okukozesa amazzi ga taapu abawera ebitundu 84 ku 100 mu bbanga lya myezi 12 egiyise.

Okutwaliza awamu aba Twaweza bazudde nti Bannayuganda 4 ku buli 10 bagamba nti obusobozi bw’okufuna amazzi amayonjo bweyongedde.

Omuwendo gwegumu ogwa Bannayuganda abasobola okufuna amazzi amayonjo era balina kabuyonjo ezitegeerekeka webakyamira tebakyagenda mu nsiko newankubadde nga bangi ku bo bakozesa kabuyonjo ez’ekinnya.

Lipooti eno aba Twaweza bagitongolezza ku Silber Strings Bugolo. Bano bakoledde wamu n’ekibiina kya Uganda Water and Sanitation NGO Network (UWASNET) era akikulira Yunia Musaazi agambye nti lipooti eno ebawadde ekifaananyo ekituufi ku mbeera y’amazzi n’obuyonjo.