Nsaba Buturo agugumbudde ettemu erikudde ejjembe mu ggwanga

By Musasi wa Bukedde

Nsaba Buturo agugumbudde ettemu erikudde ejjembe mu ggwanga

Baluwayamuseven2 350x210

Bya Paul Kakande

Omubaka wa Bufumbira County East mu Palamenti era eyaliko minisita w'empisa n’obuntu bulamu James Nsaba Buturo agugumbudde abantu abatta bannaabwe ekyeyonoonere awatali na kusaasira yadde ensisi yonna!

Buturo okwogera bino yabadde  ku mukolo gw'okujaguza ag'omulunndi ogwokutaano ag'ekibiina kya Heavenly culture world resulection of light  gye yakiikiride sipiika wa Palamenti Rebeeca kadaga eyabadde alina okubeera omugenyi omukulu .

Nsaba Buturo yagambye nti ettemu erigenda mu maaso mu ggwanga abalikola balinga abaliko obubaka bwe baagala okusindikira abeebyokerinda kyokka bandibadde beddako kubanga okutta abantu si nkola omuntu mw'ayinza okuyita okugonjoola ensonga.

Ono era avumiridde n'ekya bannansi ba South Africa okutandika okutta baddugavu bannaabwe n'agamba nti kino kikolwa kya busiru kubanga South Africa bwe yali eri mu bufuzi bw'obusosoze, amawanga amalala mu Afrika gaayimirira nayo okulwanyisa effugabbi kyoka kyewuunyisa okulaba nga mu kiseera kino beefuulidde abaabayamba.

'' Nneegasse ku bantu bano okuwandiikira omukulembeze w'eggwanga ebbaluwa ezimusaba ateeke omukono ku tteeka ly’okukuuma emirembe kubanga nange ngyetaaga era njagala ne bazzukulu bange bakulire munsi erimu emirembe.

Kyendabye wano kimpadde essanyu okulaba ng'abakulembee b'enzikiriza ez'enjawulo  bonna bayigiriza ki mu mirembe ne ndaba nga ne mu bintu ebirala bye tulina okukola tewali nsonga lwaki omuntu atta munne olw’okubatakiririza mu diini gwe gy’okiririzaamu ne byoufuzi  byanditute ekifananyi ekyo.

Ssabawandiisi wekibiina kino   David Balenzi nkonge  yagambye nti bazze bawandiikira Museveni ebiwandiiko ebyenjawulo okumusaba abeeko by'akola naye tebafunanga kuddibwamu naye ekyo tekibaggya ku mulamwa era baakusigala nga bakola ekituufu okusobola okulaba ng'emirembe gibukaala mu ggwanga ne mu nsi yonna.