Ababaka balemeseddwa okuyingira zi ‘Safe House’

By Musasi wa Bukedde

ABABAKA abatuula ku kakiiko k’eddembe ly’obuntu mu palamenti bakonkomalidde ku bikomera by’amayumba agenjawulo agagambibwa okuba Safe House ewakuumirwa abantu ne batulugunyizibwa ebitagambika.

Soma 350x210

Amayumba ababaka ge baalambudde gabadde galudde ng’abantu bagansongamu ennwe ng’agakozesebwa okutulugunya Bannayuganda ne basalawo okutuukayo balabire ddala biki ebikolebwayo.

Ababaka bano abaabadde bakulembeddwa ssentebe w’akakiiko, Jennifer Nantume (mukazi Buvuma) baalambudde ebifo bisatu okuli e Kyengera mu zooni ya Nkokonjeru B, Nalukolongo ne Nakasero ku kitebe kya ISO wabula wonna tebakkiriziddwa kuyingira.

Enju y’e Kyengera abatuuze abamu baategeezezza nti kumpi buli lunaku wabaayo abantu abalaajana mu kiro nga basaba obuyambi era tebakkiriza yadde omuntu ayimirira okuliraana ekikomera kino.

Sulaiman Kayema yagambye nti olunaku lumu omuserikale yamusaba okumutwalirako amazzi mu butamanya n’ayingira ekikomera naye baamukuba emiggo nga bwe bamubuuza eyali amulagidde okuyingirayo era okuva olwo teyaddayo.

Mu luggya lw’ennyumba eno waasangiddwawo emmotoka nnya okuli ekika kya Premio bbiri ng’emu terina nnamba, eya Noah emu ne Benz enzirugavu era nga wakuumibwa butiribiri.

Abatuuze baategeezezza nti enju eno nannyini yo ayitibwa Roger ng’akolera poliisi ng’omubazi w’ebitabo avunaanyizibwa ku kitundu ky’amassekkati (Central Region).

Ababaka abalala kw’abaddeko Robert Kyagulanyi Ssentamu – Bobi Wine( Kyaddondo East), Latif Ssebagala (Kawempe North), Francis Zaake (munisipaali y’e Mityana), Veronica Nannyondo (Mukazi Bukomansimbi), Rafael Magyezi (Igara West) n’ababaka abalala.

Bano olwatuuse e Kyengera baayogedde n’omusajja eyabeeyanjulidde nga Vincent Kalibbala akulira ekifo ataabaganyizza kuyingira okuggyako nga bafunye olukusa okuva e Nakasero ku kitebe kya ISO.

Bino obwedda bigenda mu maaso ng’abaserikale n’abasajja abaabadde mu leeya bali mu luggya beetala n’emmundu zaabwe abalala nga bakuba amasimu ag’okumukumu era ekyaddiride ababaka ne babivaako.

Bwe baavudde e Kyengera baagenze butereevu e Nalukolongo awali ebizimbe ebyazimbibwa ng’akasomero ka nassale era wano waasangiddwaawo abaserikale basatu okwabadde abali mu by’ambalo bya LDU babiri n’owaamagye era nga bano baasindise ababaka okusooka okugenda ku poliisi e Nateete bafune olukusa okuva ewa MaJ. Sulaiti ababaka kye baagaanye.

Aloysius Mukasa omu ku batuuze yategeezezza ababaka nti awo e Nalukolongo wennyini baasangawo mutuuze munnaabwe ayitibwa Yiga eyali omusuubuzi w’embaawo mu Ndeeba gwe battirawo era baggyawo mulambo ne bagenda ne baziika.

Ababaka okulambula kwabwe baakufundiikiridde Nakasero ku kitebe kya ISO wabula wano beenyodde n’abaserikale abakuuma omulyango oguyingira munda okumala eddakiika ezikunukkiriza mu 40 okutuusa lwe baalemeddwa okutuuka ku kukkaanya.

Akulira ekifo kino yabasindikidde omuserikale eyategeerekeseeko erya Kitara eryabadde ku kyambalo kye n’asaba omubaka akulira akakiiko yekka ayingire, wabula ababaka okwabadde Kyagulanyi n’abalala ne bamugamba nti tayingira kuba buli kimu bakikolera wamu era naye kye yakkirizza.

Baabadde bakyali awo ne wavaayo omusajja eyabadde mu ssaati enjeru n’ettaayi mu langi eya kyenvu n’abalagira okuvaawo kuba baalemeddwa okutuuka ku kukkaanya.