Bambega beesibye ku muwala Fortune Ayebare ku bigambibwa nti yeetaba mu kutta Nagirinnya

By Musasi wa Bukedde

Bambega beesibye ku muwala Fortune Ayebare eyakwatibwa ku bigambibwa nti alina ky’amayi ku kutemula Nagirinya.

Unity1 350x210

Ayebare yakwatibwa bambega b’amagye aba CMI kyokka famire ye n’erowooza nti yali awambiddwa. Kyazuuka nga yali akwatiddwa ku bya Nagirinya.

Essimu ye yazuulwa nga y’emu ku zaasembayo okukozesebwa okwogera ne Nagirinya nga tannattibwa.

Kyategeezeddwa nti bambega bwe baabuuza Ayebare enkolagana ye ne Nagirinya yategeeza nga bw’atamulinaako kakwate.

Okuggyako essimu ye yali ebbiddwa nga kirabika abaagibba be baagissaamu layini okukubira Nagirinya.

Kyokka bambega bagamba nti baafunye amawulire ne balondoola, agalaga nti Ayebare yali mu mmotoka Prado mwe baatwalira Nagirinya e Mukono okumutta.

Kyokka aba famire ya Ayebare baawakanyizza eky’omuntu waabwe okubeera mu by’okuwamba Nagirinya.

Ronald Ainomugisha mwannyina wa Ayebare yagambye nti ng’obutemu tebunnaberaawo Ayebare yamukubira n’amutegeeza ng’essimu ye bwe yali ebbiddwa era yamusaba amuwe ku nnamba z’abooluganda lwabwe ze yalina.

Yagambye nti Ayebare muwala muntumulamu atalina ngeri gye yandikoze misoni za butemu kubanga akola mu kkampuni ya Beetingi era omusaala gwe mutono. Ebiseera ebisinga tabeera na ssente.

Ssinga akola ddiiru ezo yandibadde bulungi. Kyandiba ng’abatemu, babba essimu ya Ayebare ne bagyeyambisa mu misoni yaabwe.