Abengabi batutte Nsamba mu kkooti

By Paddy Bukenya

ABENGABI mu ssiga lya Muyomba omuva Owaakasolya Nsamba baddukidde mu kkooti ya Kisekwa e Mmengo nga bawakanya Nsamba aliko kati Ssaalongo Aloysius Magandaazi gwe bagamba nti yatuuzibwa mu bukyamu.

Ngabi1 350x210

Bya PADDY BUKENYA
ABENGABI mu ssiga lya Muyomba omuva Owaakasolya Nsamba baddukidde mu kkooti ya Kisekwa e Mmengo nga bawakanya Nsamba aliko kati Ssaalongo Aloysius Magandaazi gwe bagamba nti yatuuzibwa mu bukyamu.
 
Bano baakulembeddwaamu Joseph Kasobya ne Samuel Walter Lubega Mukaaku. Baatuuzizza olukiiko lw’ekika ku kiggya kyabwe e Buwanda mu ggombolola y’e Buwama mu disitulikiti y’e Mpigi ne bawera nti sibaakukkiriza Magandaazi kusigala mu ntebe ya Nsamba kubanga kikontana n’ennono.
 
Bagamba nti baasazeewo okumutwala mu kkooti ya Kisekwa nga bawakanya obukulembeze bwe, nga bagamba nti si bulambulukufu okuviira ddala ku yamutuuza Robert Muyomba gwe bagamba nti si y’akulira essiga lya Muyomba.
 
Kasobya agambye nti ekigendererwa kya kugatta kika kyabwe nga bagoberera ennono n’ebyobuwangwa era n’asaba Mmengo okukwata ensonga zaabwe n’obwegendereza kubanga Ssaalongo tasikira atali Ssaalongo.
 
Omuwandiisi w’essiga lya Muyomba, Harunah Lubega agambye nti batutte emisango mukaaga mu kkooti ya Kisekwa okuli ogw’okutuuza Nsamba mu bukyamu, ogw’okuteekako omusika atali mu mateeka ga Buganda n’emirala nga bwe gyayanjuddwa.
 
Lubega Mukaaku agambye nti mu kiseera kino abazzukulu abamu tebakkirizibwa kugenda ku mbuga ya kika olw’entalo eziriwo nga zeekuusa ku byenfuna.
 
Yavumiridde abakikola ng’agamba nti ekika si kya muntu omu wabula bonna kibakwatako kyenkanyi. Ssaalongo Joseph Magandaazi yatuuzibwa ku bwa Nsamba mu September 13, 2017 wakati mu bukuumi obwamaanyi nga n’abamu ku mukolo tebaaliko.