Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka gye batobamu okwebezaawo n'okusoomooza kwe bayitamu

By Deo Ganyana

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde ffirimu empya gye baatuumye 'Kyaddala' (It's Real )ogugenda okulagibwa ku mikutu ebyenjawulo.

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 350x210

Ffirimu eno ekwata ku ngeri abavubuka mu Africa ne mu nsi yonna engeri gye batambuzaamu  obulamu n'okusoomooza kwe bayitamu okusobola okwebeezaawo.   

Ffirimu eno erimu abazannyi abaamannya abawerako omuli Maphew, Martha K, n'abazannyi abalala abalungi  nkuyanja era nga ffirimu eno yaakutandika okulagibwa omwezi guno okuva nga 27th.