40 basimattusse akabenje ka bbaasi ku lw'e Mityana

ABANTU abasukka mu 40 baddusiddwa mu ddwaaliro nga biwala ttaka, oluvannyuma lw’okufuna ebisago eby’amaanyi, mu kabenje ka bbaasi ku luguudo lw’e Mityana. Mu kabenje kano, bbaasi ya kkampuni ya Link nnamba UBF 869 R ebadde eva e Kasese ng’eda Kampala eremeredde omugoba waayo n’eva ku kkubo n’egwa mu luwonko ne yeefuula.

Abasaabaze nga bava mu bbaasi ya Link eyagudde mu luwonko.

Bya Luke Kagiri 

ABANTU abasukka mu 40 baddusiddwa mu ddwaaliro nga biwala ttaka, oluvannyuma lw'okufuna ebisago eby'amaanyi, mu kabenje ka bbaasi ku luguudo lw'e Mityana.
Mu kabenje kano, bbaasi ya kkampuni ya Link nnamba UBF 869 R ebadde eva e Kasese ng'eda Kampala eremeredde omugoba waayo n'eva ku kkubo n'egwa mu luwonko ne yeefuula. 

Akabenje kaaguddewo nga bukya ku kyalo Buwalula, ekiri mu gombolola y'e Malangala mu disitulikiti y'e Mityana kuluguudo oluva e Mityana okudda e Kampala. 

Abadduukirize bagambye nti bawulidde bbaasi egwa era bagenze okutuukawo nga balaba abantu balaajana, kwekukubira poliisi eyatutte kabangali yaayo n'ebasomba ng'ebatwala mu malwaliro agaliraanyewo. 

 aawonawo mu ddwaliro e ityana Kaawonawo mu ddwaliro e Mityana.

 

"Twakubidde poliisi eje naye ffe abasoose twabuliddwa ekyokukola kubanga embeera yabadde mbi nnyo. Abantu baabadde bamenyesemenyese nga tetuyina bwe tubatwala, naye oluvannyuma bayambiddwa," bwatyo Cecilia Namwogezi bwe yagambye. 

Abatuuze akabenje bakatadde ku mugoba wa bbaasi gwe bagamba nti yabadde adduka ndiima. 

Wabula abalala balumiriza nti obudde akabenje wekaagwiridewo bwabadde bwa lufu, ate nga wabaddewo aba bodaboda abeegoba mu luguudo. 

"Wabaddewo aba bodaboda abegoba nga bayisa baasi nayo nga bw'ebayisa. Bwe baatuuse wano, owa bbaasi yayagadde okuwungula aleme kubakoona bbaasi kwekumulemerera n'egwa mu kikko," bwatyo Banabas Musingo, omu ku baabadde mu baasi eno bwe yagambye. 

 badduukirize nga beetegereza bbaasi gye yagudde Abadduukirize nga beetegereza bbaasi gye yagudde.

 

Abaafunye ebisago abamu batwaliddwa mu ddwaliro lya Gavumenti e Mityana ate abalala ne batwalibwa e Mulago. 

Mu bafunye ebisago mwabadde abakyala ababadde n'abaana babwe kyokka baana bangi bafunye ebiago ebya maanyi.

Omuduumizi wa poliisi e Mityana, Mwene Mukono yeyabadde akulembeddemu basajja be okuyamba abe bisago. 

Mu kino kino wenyini wiiki ewedde wagwayo akabenje, motoka etaategeerekeka bwe yakoona omuntu n'emubetenta. Omuntu ono teyamanyika era ebitundu by'omubiri gwe byapakirwa mu kkutiya okubitwala mu ggwanika lye ddwaaliro e Mityana.

 bakyala nabaana baabwe baasimattuse nebisago nga bali mu ddwaaliro e ityana Abakyala n'abaana baabwe baasimattuse n'ebisago, nga bali mu ddwaaliro e Mityana.