Poliisi ekedde kusalako maka ga Bobi Wine e Magere

By Musasi wa Bukedde

Poliisi ekedde kusalako maka ga Bobi Wine e Magere

Funa1 350x210

Poliisi ekedde kusalako maka ga Bobi Wine e Magere! Kabangali zaayo zisimbye ku ggeeti zonna ezituuka mu makaage kyokka Bobi tannalabwako.

Waliwo n'abapoliisi abalabidwako nga bawalampye emiti okukwenneenya ebigenda maaso mu makaage.

Kino kiddiride Bobi okulangirira nti agenda kukola ekivvulu e Busabala wadde nga poliisi yabadde emugaanyi nga bagamba tebalina baserikale bamala kumuwa bukuumi.

alt=''
alt=''

 

 

 

.......................................................................................................................

Ekibadde e Busaabala ku One Love Beach mu bifaananyi

alt=''
alt=''

 

 

................................................................................................................................
 

Bobi wine agambye nti talina tteeka ly'amenye okubomba mu kibuga mwe yasiibye.

Era agamba yeewunyisa poliisi okugamba nti terina bukuumi bumala ng'era kweyasinzidde okusazamu ekivvulu kye kyokka ne bayiibwa mu bungi mu maka ge ne ku ku bbiici e Busaabala gye baayiye abampi n'abawanvu

....................................................................................................................................