FDC nayo etegese emikolo gy'Ameefuga egyayo

By Ponsiano Nsimbi

FDC nayo etegese emikolo gy'Ameefuga egyayo

Fdc3 350x210

Okukuza emikolo gy'Ameefuga ag'omulundi ogwa 57 okwategekeddwa bannakibiina kya FDC ku kitebe kyabwe e Najjanankumbi gitandise nga  gyetabiddwako pulezidenti w'ekibiina kino, Ying. Patrick Oboi Amuriat, akulira oluda oluwabula gavumenti mu palamenti Betty Achan Aol, ababaka; Ssemujju Nganda ne Kabaziguruka n'abakulembeze abalala bangi.

Wabula okwawukanako n'emirundi emirala leero poliisi terina gwekugidde kwetaba kubikujjuko bino era embeera ya mirembe.

Kyokka oluvannyuma, Poliisi n'amagye basazeeko ekitebe kya FDC e Najjanankumbi okubatangira okubaako akavuyo konna ke beetabamu.

BannaFDC nabo bakutte ebipande bayimiridde ku luguudo mu maaso g'ekitebe kyabwe nga bwebawaga.
 
EBIFAANANYI BYA PONSIANO NSIMBI NE JANAT NAMUWAYA