SK Mbuga tenderezza Bukedde, muli bamaanyi.

By Martin Ndijjo

Omugagga SK Mbuga asiimye Bukedde famire olw’omulimu ogw’amaanyi gwe bakola okusomesa n’okumanyisa Bannayuganda ebigenda mu maaso mu nsi

Mbug1 350x210

Omugagga SK Mbuga ng’amannya ge amatuufu ye Sulaiman Kabangala Mbuga, leero akyaddeko ku kitebe kya Vision Group awali offiisi za Bukedde n’asiima omulimu ogw’amaanyi ogukolebwa aba Bukedde famire mu kusomesa, okumanyisa n’okusanyusa Bannayuganda.

“Bannange nnambudde ekifo muli bamaanyi, ekinsanyusizza abantu mu baweraddala amawulire amatuufu era agesigika.

Bukedde atuuka buli wamu era e Dubai ne Sweden gyembadde mubadde mufuna ebinkwatako ne mubiwa amantu mu butuufu bwabyo”   

 buga ne ifi a ueen owa ukedde v Mbuga ne Fifi Da Queen owa Bukedde Tv.

Nze bwembeera ne kyenjagala okumanya nekwatta Bukedde era buli lunaku nkeera kusoma Bukedde Olupapula, ssiva ku BukeddeTv ate ne Bukedde Fama Embuutikizi ngiwuuliriza nnyo.

Mbuga asoose ku Bukedde Tv kwasinzidde nategezza abawagizi be nga kati bwe kiri ekiseera eky’okukola kubanga ebizibu byabadde atubiddemu byawedde era musanyufu kubanga kkooti e Sweden yamwejeereza emisango  gy’obufere egyaali gimuguddwako kati alindiridde kumuliyirira olw’okumwonoonera erinnya n’okumumalira obudde ekimufiiriza ennyo.