Eyali bba wa Kulannama awadde Kenzo amagezi: 'Guma muto wange, naffe twabiyitamu ne biggwa'

By Josephat Sseguya

Eyali bba wa Senga Kulannama n’amugoba, Abdul Lubega, awadde Kenzo amagezi nti byonna by’ayitamu ye (Lubega) bifaanana n’ebibye Kulannama bwe yamugoba mu February wa 2019.

Kulanna 350x210

“Muto wange Kenzo guma kubanga nange Kulannama bwe yangoba nakogga, nasiiwuuka, neesika naye ng’ekinnuma kwe kungoba nga sibitegeddeeko nga ne gye byatandikidde simanyiiyo.

Naye olw’okuba nali sisobola kugenda mu bya busamize, nakkiriza ne mmuviira. Ky’olina okukola kati kukkiriza nti ekyo kyabaddewo era ogende mu maaso.

Nange nnafunayo omukyala omulala Hajat Sophia eyanneerabiza Kulannama. Ate nange era nnina omwana ewa Kulannama ate nga naye muwala ky’ova olaba ng’amagezi ge nkuwa g’oba ogenda nago kuba tufaanana.

Abaana abawala bafaanana bamaama baabwe era bye babagamba bye batwala, kati awo manya nti osigadde wekka era kikkirize...

Obubaka buno Lubega yabuweerezza Bukedde ng’agamba nti yali yasirika dda mu bulumi naye ayagadde alage abantu kye yayitamu nga waliwo n’omuntu omulala (Kenzo) gw’ayamba.