Ebya Kenzo ne Muzaata babijuliza Mulangira Nakibinge

By Martin Ndijjo

Abawagizi ba Kenzo basabye Omulangira Nakibinge ayingire mu nsonga ze ne Sheikh Muzaata.

Sseg 350x210

Abawagizi b’omuyimbi Eddy Kenzo ensonga ze ne Sheikh Muzaata bazijuliza Jjajja w’Obusiraamu mu ggwanga Omulangira Kassim Nakibinge

Bano nga bakulembeddwamu Loodi Kansala Muhammadi Ssegirinya amanyiddwa nga Eddoboozi ly’e Kyebando, basinzidde mu lukung’aana lwa bannamawulire ku Centenary Park ne basaba Omulangira Kassim Nakibinge ayingire mu nsonga zino atabaganye Kenzo ne Muzaata.

“Kino si kiseera kya kulaga ani asinga amaanyi oba okuvuma wabula twagala mirembe. Bano bombi Basiraamu era omuntu asobola okukakkanya si nakindi okumalawo olutalo luno olusajjuze ye Mulangira nga bwe yakola ku nsonga zange ne Muzaata bwe twaalina obutakanya wamu ne hon. Mubarak Munyagwa.

Kyokka bbo Muhammadi Nsubuga, Tomas Bagonza ssentebe wa L.1 mu Katanga ne Elias Katongole n’abalala obwedda abogera nga bafukamidde bakutte ebipande ebisaba Omulangira Nakibinge okutabaganya ababiri bano bagamba singa Omulangira tavaayo bagenda kulangira ekiddako kubanga tebasobola kusigala nga batunula omuntu wabwe (Kenzo) ng’ali mu bulumi olwa Muzaata.

Bano okuvaayo bwebati kyadiridde Muzaata okutegeeza abaali ku mukolo gwa Rema Namakula kwe yakyaliza bba omupya Hamzah Sebunya ewa ssenga we Sarah Nabatanzi nga Kenzo bw’ali ‘laavu nigga’ ssemyekozo eyalemwa okuwasa ng’alowoza mbu ayagala muwala alinga nnyina, n’amulangira agende awase nnyina.

Teyakomye okwo. Ku Lwokutano lwa wiiki ewedde yayongeddeko nti empisa ze n’ennyambala ye ey’obuma mu matru alinga omuseegu.