Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe baziddwaayo e Kigo.

By peter ssaava

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula e Wakiso ne babasomera omusango guno.

Ssaavabazigu1 350x210

Bya PETER SSAAVA

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula e Wakiso ne babasomera omusango guno.

Abavunaanibwa kuliko; Ibrahim Bukenya, Richard Mwebaza, Sam Muliisa, Rashid Kapi ne Julius Turyahikayo.

 mmundu ze baakwatibwa nazo Emmundu ze baakwatibwa nazo.

 

Kigambibwa nti baalumba kkampuni y'Abachina ekola enzigi eya Fujian Fabricating Company e Nkoowe mu Wakiso.

Ekikolwa kino baakikola nga June 16, 2018 era nga babba obukadde 250, amasimu 4, laptop 2 n'ebintu ebirara.

Omulamuzi Damalie Lwanga yabazizza mu kkomera e Kigo okutuusa nga November 6, 2019 okuddamu okuwulira obujulizi obulala.

 basibe nga batuusibwa ku kkooti Abasibe nga batuusibwa ku kkooti.