Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

By Musasi wa Bukedde

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Kap1 350x210

Bya Reginah Nalunga
 
OMUKAZI abadde yefuula omusawo nabba abalwadde mu ddwaliro e lya Gavumenti erya  Kawempe National referral hospital poliisi emukutte.
 
Grace Alinda 35,omutuuze w'e Mpigi Katende yakwaatiddwa ku bigambibwa nti aludde ng'awuddiisa  abalwadde n'a bajjanjabi nti musawo.
 
Abadde abbira ku mwaliriro ogwo kuna okubeera abalwadde obolukkale.
 
Kyokka  omukwatte egezzaako okweggya ku mwaliliro ogw'okuna aggwe wansi olw'okutya okuswaala.

Dr.Nehemiah Katusiime akolanga dayirekita w'e ddwaaliro agambye nti Alinda amaze mu ddwaaliro lino emyezi esatu era bulijjo bamunoonya oluvannyuma lw'okufuna  okwemulugunya mu bantu abawera.

 
Agasseeko nti obujjanjabi bwonna mu ddwaaliro lino bwa bwerere.
 
Patrick Onyango omwogezi wa poliisi mu Kampala akakasizza okukwatibwa kwa Alinda.
 
Agambye nti agguddwaako ogw'okweyita kyatali n'okuggya ku bantu ssente mu lukujjukujju ku fayiro nnamba SD:REF: 76/18/10/2019.
Alinda omusango agukkiriza  n'agamba webamukwaatidde abadde yakakkola 400,000/-.