Omuyizi afiiridde mu kisulo ky'essomero Poliisi n'etabukira abalikulira

By Paddy Bukenya

OMUYIZI wa S.5 afiiridde mu kisulo ky'essomero e Mpigi poliisi n'ekunya abasomesa lwa kusanga nga balongoosezza omulambo ekireseewo okubuusabuusa ku nfa ye.

Mugumu0 350x210

Alex Muwanga (17) omuyizi mu S.5 ku ssomero lya Kisugu S.S Mbale - Mpigi mu Mpigi Town Council y'asangiddwa ng'afiiridde mu kisulo ky'abalenzi kyokka nga omulambo baagulongosezza bulungi ne baguggya mu katanda omugenzi we yafiiridde ne bagussa ku kitanda ekirala olwo ne baguggalirayo ne kkufulu. 

Poliisi y'e Mpigi yatemezeddwaako omu ku batuuze n'egenda bukubirire kyokka etuukidde ku muggalo era ekiseera ng'enoonya abakulira essomero nga bonna beebuzabuza ne babulawo. 

 

Oluvannyuma nnannyini ssomero lino, Ronald Mukiibi azze n'omuyizi alina ebisumuluzo bya kkufulu ne baggulawo kyokka poliisi kigibuuseeko bwe basanze nga omulambo gwomuyizui baagulongosezza bulungi n'ekisulo ne bakisimuula kyonna ekigireetedde okwekengera nti wandibawo ekitali kituufu ku nfa y'omuyizi ono. 

Poliisi esazeewo okutwala abayizi bonna ababadde basula n'omugenzi ku kitebe kyayo  Mpigi okubaggyako sitatimenti ng'okunoonyereza bwekugenda mu maaso n'omulambo ne gutwalibwa e Mulago okwekebejjebwa. 

Akulira poliisi y'e Mpigi, Elias Twesigye ategeezezza nti omuyizi ateeberezebwa okuba nga yafudde kiro kyokka ne balwawom okutegeeza poliisi okutuusa ku ssaawa 5:00 ez'oku makya. 

Abayizi ababadde mu maziga bategeezezza nti munnaabwe yabadde mulamu bulungi era yasomye bulungi ekiro (Preps) naye beewunyizza okukeera nga yafudde ng'ate n'emisana yasiibye asamba omupiira. 

Omwogezi wa poliisi mu Katonga, Joseph Tulya ategeezezza nti omulambo baasanze guvaamu omusaayi mu kamwa era balinda bbaluwa ya musawo kyokka n'alabula n'abazadde okulambulanga abaana baabwe we basula kubanga ekisulo kibadde mu mbeera embi.

OMUYIZI wa siniya eyokutaano afiiridde mu kisulo kye ssomero eMpigi poliisi nekunya abasomesa lwakusanga nga balongosezza omulambo ekireseewo okubusabusa ku nfaye. Polisii ye Mpigi esanze akaseera akazibu bwegenze ku ssomero lya Kisugu SS Mbaale Mpigi okugyayo omulambo gwomuyizi asangiddwa nga yafudde mu ngeri etategerekeka kyokka ngabakulira essomero omulambo bagusibiddeyo ne kkufulu. Alex Muwanga 17 omuyizi mu S.5 ku ssomero lya Kisugu SS Mbaale Mpigi mu Mpigi town Council yasangiddwa nga afiiridde mu kisulo kyabalenzi kyokka nga omulambo bagulongosezza bulungi nebagujja mu katanda weyafiiridde nebamuteeka ku kitanda ekirala olwo nebaguggalirayo ne kkufulu. Poliisi ye Mpigi etemezeddwako omu ku batuuze nagenda bukubirire kyokka etukidde ku muggalo era nemala ekiseera nga enoonya abakulira essomero nga boona bebuzabuza nebabulawo. Oluvanyuma nanyini ssomero linoi Ronald Mukiibi azze nomuyizi alina ebisumuluzo bya kkufulu nebaggulawo kyokka poliisi kigibuseeko bwebasanze nga omulambo gwomuyizui bagulongosezza bulungi nekisulo nebakisimuula kyonna ekigiretedde okwekengera nti wandibawo ekitali kituufu ku nfa yomuyizi ono. Poliisi esazeewo okutwala abayizi bonna ababadde basula nomugenzi ku kitebne kya poliisi ekikulu empigi okubagyako sitatimenti nga okunonyereza bwekugenda mu maaso nomulambo negutwalibwa eMulago okwekebejjebwa. Akulira poliisi ye Mpigi Elias Twesigye ategezeza nti ouyizi ateberezebwa okuba nga yafudde kiro kyokka nebatetemya ku poliisi okutuusa ku saawa taano ezokumakya kyokka nebonoona nokunonyereza kwabwe bwebalongosezza omugenzi weyafiiridde. Abayizi ababadde mu maziga bategezeza nti munaabwe yabadde mulamu bulungi era yasomye bulungi ekiro (Preps) naye bewunyizza okukeera nga yafudde ngate nemisana yasiibye asamba mupiira. Omwogezi wa poliisi mu Katonga Joseph Tulya ategezezza nti omulambo basanze guvaamu omusaayi mu kamwa era balinda bbaluiwa ya musawo kyokka nalabula nabazadde okulambulanga abaana baabwe webasula kubanga ekisulo kyasangiddwamu kibadde kikyafu nyo nokubeera mu mbeera embi.