Eddy Kenzo alinnye ennyonyi akomawo: Enteekateeka z'okumwaniriza ziizino

Abawagizi be eggulo baasiibye beetala kumwaniriza ku kisaawe e Ntebe w’asuubirwa okutuuka ku ssaawa 7:00 ez’emisana.

Abawagizi be eggulo baasiibye beetala kumwaniriza ku kisaawe e Ntebe w'asuubirwa okutuuka ku ssaawa 7:00 ez'emisana.

Basiibye batungisa mijoozi okuwandiikiddwa ebigambo 'Welcome Eddy Kenzo, Uganda's music export' n'ebigambo ebirala ebimuwaana.

E Ntebe w'ategekeddwawo oluseregende lw'emmotoka olugenda okumutwala obutereevu e Makindye mu Kizungu w'agenda okukuba olukung'aana lwa bannamawulire annyonnyole by'atuseeko wakati we ne Muzaata eyamuvuma jjuuzi okubeera ssemyekozo.

Abategeka okumwaniriza bakulembeddwa Full Figure ne Maneja Roger Lubega owa Spice Diana ategese ‘convoy' erimu mmotoka za BMW, Range Rover, Limousine n'endala.

Kenzo ali mu Amerika essaawa eno. Waabaddewo n'ebyogerwa nti minisita Kiwanda alina entegeka okutwala Kenzo ewa Pulezidenti Museveni amwanjulire engule ze yawangudde.

Abadigize e Mukono bayiiridde Eddy Kenzo baketi y'omusulo ku siteegi ng'ajaganya amazaalibwa ge: Abaggunze agakonde

Abadigize e Mukono bayiiridde Eddy Kenzo baketi y'omusulo ku siteegi ng'ajaganya amazaalibwa ge: Abaggunze agakonde

Omuyimbi Eddy Kenzo ne Anita Fabiola oba babala ka ki!!...