Omulabirizi Lubowa akyalidde Mutebi e Bungereza

E Bungereza yayaniriziddwa Abakristaayo ne Rev. Nathan Ntege. Mu maka ga Ntege Omulabirizi Mutebi ne mukyala we Milly Mutebi gye babeera okuva mu July lwe baasiibulwa mu ddwaaliro. Wano we bava ne bagenda mu ddwaaliro okwekebejjebwa.

 Re. Nathan Ntege ( ku kkono), Janepher Lubowa, Milly Mutebi, Bp. Hannington Mutebi ne Bp. Michael Lubowa.

OMULABIRIZI wa Central Buganda Michael Lubowa ne mukyala we Janepher Lubowa baakyalidde Bp. Hannington Mutebi ali mu kujjanjabibwa kookolo w'omu busomyo.

Omulabirizi Lubowa yagenda e Bungereza nga October 10, 2019 era bamusuubira okudda e Kasaka wiiki ejja nga October 31, 2019. Baagenze ku bijaguzo by'Obulabirizi bw'e Bristol nga buweza emyaka 50.

E Bungereza yayaniriziddwa Abakristaayo ne Rev. Nathan Ntege.  Mu maka ga Ntege Omulabirizi Mutebi ne mukyala we Milly Mutebi gye babeera okuva mu July  lwe baasiibulwa mu ddwaaliro. Wano we bava ne bagenda mu ddwaaliro okwekebejjebwa.

Omwezi oguwedde, Omulabirizi w'e Namirembe Wilberforce Kityo Luwalira ng'ali ne mukyala we Faith Luwalira nabo baagenda e Bungereza ne bamulambula. Bp. Mutebi ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Kings College Hospital e Bungereza.