Eyatta Moze Radio bamusonyiye ogw'obutemu: 'Yamutta mu butanwa'

By Josephat Sseguya

EYATTA Moze Radio bamusonyiye ogw’obutemu ne bamusingisa ogw’okumutta mu butanwa.

Whatsappimage20191028at115505 350x210

Radio yafa ku Lwokuna nga 1 February, 2018 bwe yasubwa wansi kanyama, Godfrey Wamala eyakazibwako erya Troy bwe baafuna obutakkaanya ku bbaala ya De bar e Ntebe.

Moze ng’amannyage amatuufu ye Moses Ssekibogo, yafiira ku ddwaliro lya Case clinic e Nakasero n’aziikibwa e Kagga-Nakawuka mu disitulikiti y’e Wakiso ku mukolo ogwefugibwa ba kifeesi abaakuba abantu n’okubabba.

Kkooti enkulu e Ntebe ku makya ga leero Mmande, esingisizza Godfrey Wamala omusango gw’okutta Radio mu butanwa n’azzibwa mu kkomera okutuusa nga 31/Oct-2019 lw’aliweebwa ekibonerezo.

Omulamuzi agamba nti wadde nga ye yamutta, ekigendererwa kye tekyali kya kumutta kyokka yeekanga amuse era ogw’obutemu n’ogwokutta mu butanwa gya njawulo.

Ogw’obutemu munene ku gw’okutta mu butanwa n’ebibonerezo tebyenkana.

 Ebifaananyi  bya GODGREY SSEMPIJJA

EBIRALA KU MOZE........

Omulamuzi ayise omuserikale wa Poliisi ku by'okutta Moze Radio

Omulamuzi ayise omuserikale wa Poliisi ku by'okutta Moze Radio

Bannamateeka bayingidde ku by'okutunda ennyumba ya Moze Radio

  • Home
  • Search
  • Moze Radio

Search result for“Moze Radio”

Sort by : Date Relevance

 

Abayimbi baasuze mu maka ga Moze e Makindye okumukubako eriiso evvannyuma