Ebifaananyi ssonsomola eby'Embuutu y'Embuutikizi Meketa

By Josephat Sseguya

OBUDDE bwe bwazibye mu Mbuutu y’Embuutikizi, ababacakaze baavudde ku by’okumeketa ne batandika kubwatula kubwatuzi ng’ababwatula ebiberenge ebitulise buli kyabadde kibasala mu maaso nga kiriibwa mu ngeri emu oba endala.

Embuutuday6 350x210

 
Gravity Omutujju ye yatanudde olutalo bwe yasuddeemu oluyimba lw’Ekyakuzaala kye kirikutta ate bwe yatandise olw’embuzi zaakutudde bangi ku bataategedde makulu ga Kumeketa baakutudde embuzi za bannaabwe eziwera.

Ate omuyimbi oyo bwe yaleese ekiwala ekyanywa amazzi ku sitegi ne batandika okuzina nga betigonyola, ddala okumeketa ne kusukka buli omu we yakulowooleza.

Yabadde ntujjo ng’abacakaze bawoza kimu nti tebatya loosi wadde nga baabadde mu bisooto ebingi ng’ebyokuvulubana tebabiriiko okugyako okumeketa.

Buli omu yamekese nga bw’asobodde ne bw’ategedde amakulu mu kigambo ekyo era poliisi ne LDU bangi be baalemesezza okumeketa bo nga bwe baabatte bakitutte nga bamaze n’okukutula ddiiru mu busikosiko mu nzikiza.

Bw’obuuza buli yabaddewo bye yamekese, abajjukira nga tebaatamidde nnyo olw’omwenge gwa Bell lager ogwabadde ogw’ebbeeyi entono, asobola okukugamba soda wa Pepsi omungi gwe yanywedde, air time wa MTN, siyagi wa Margarine gwe yalidde naye nga wewuunye bangi tebajja kukugamba bye baameketedde mu nzikiza.

Aba Luba Property consultants be bamu ku baatadde ssente mu Mbuutu eyabadde e Nakivubo era nabo baamekese mu ngeri yaabwe.

Ebifaananyi bya JOSEPHAT SSEGUYA NE DEO GANYANA

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

alt=''

 

 

alt=''

 

 

 

 

 

alt=''

 

 

 

alt=''

 

 

alt=''

 

alt=''