Aba LDU baakulambibwako amannya gaabwe

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

ABA LDU bakuweabwa ennamba n'okuwandiika amannya gaabwe ku yunifoomu zaabwe ng’emu ku nkola y'okuzuula abasiwuufu b'empisa.

Ldu7 350x210

Bya HENRY KASOMOKO

 ABA LDU bakuweabwa ennamba n'okuwandiika amannya gaabwe ku yunifoomu zaabwe ng’emu ku nkola y'okuzuula abasiwuufu b'empisa.

 Bino ebiragiro bya botoddwa Lt. Col. Hassan Kalungi bwe yabadde asisinkanye batuuze b'e Kamwokya mu kaweefube ab'amagye gwe baliko ne poliisi okulaba nga bakendeeza obumenyi bw'amateeka mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.

 Olukungaana luno lwagendereddwaamu okumanyisa abatuuze engeri gye basobola okumanya obukodyo  bwe bayinza okweyambisa nga balwanyisa n'okumalawo obumenyi bw'amateeka mu bitundu byabwe.

Kalungi abantu baamuloopedde abaserikale ba LDU bebagamba nti basusizza okusiiwuuka empisa nga bakola emirimu gyabwe ng’abatuuze bamunokoleddeyo ne munnaabwe Moses Baluku abadde yakattibwa aba LDU mu bitundu bya Mulimira abatuuze gwe bagambye nti abaserikale bano bamusanga adda wakka.

 Kalungi yabaanukudde nti kituufu aba LDU abamu balina obusiiwuufu bw'empisa kyokka n'asaba  abantu obutakoma ku kubogeerako bwogezi wabula okubatuukiriranga buli bwe babeera babatulungunyizza okubanguyiza  omulimu gw'okubavunaana.

 Yanokoddeyo amateeka aba LDU ge bagenda okubateekako omuli, okuteeka amannya gaabwe ku bya mbalo byabwe n'ennamba okwanguyiza oyo gwe babeera bakozeeko obuzibu okumwawula obulungi, bakukola patulo nga bali ne poliisi y’omukitundu abasentebe oba abakulira ebyokwerinda mu bitundu nti kubanga bebabeera bamanyi bobulungi bantu, n'okunoonyayo enkola mwebagenda okubawulira  mu bibinja  nga singa  ekikolobero kikolebwa mu kitundu  bakama baabwe bamanya nti eki kibinja  bwekiti n'ebirala.