Wuuno omulenzi asabye okuwasa Omumbejja Victoria Nkinzi

By Musasi wa Bukedde

OMUVUBUKA amaze ebbanga ng’aperereza muwala wa Kabaka wa Buganda, Omumbejja Victoria Nkinzi kyaddaki amuwangudde omutima bw’amunaanise empeeta nkusibiddaawo.

Panda 350x210

Gareth Onyango owa kkampuni ya Flames Marketing & Advertising omu ku bavubuka abamanyiddwa okulya obulamu era kitunzi akolagana n’amabaala ag’enjawulo mu Kampala okugatumbula, ‘yawangudde omutima gw’Omumbejja bw’amusabye akkirize okumuwasa.

N’Omumbejja yazzeemu nti nzikiriza olwo kwe kumunaanika empeta. Bino byabadde ku kabaga k’amazaalibwa g’Omumbejja ababiri bano ge baakulizza mu Thailand.

Ebifaananyi ebyakubiddwa n’akatambi akakwatiddwa nga Onyango afukamidde asaba Omumbejja obufumbo n’oluvannyuma ng’alaga olugalo kwe yatadde empeta ebyasaasaanye ku mikutu gya ‘social media’ byacamudde abantu bakira ababiraba nga babayozaayoza okutuuka ku kino.

Omumbejja Nkinzi ne Onyango okumala ebbanga bazze balabibwa nga bali bombi ku bubaga obw’enjawulo ne mu bifo ebisanyukirwamu wano mu ggwanga n’ebweru.

Olw’essanyu lye yafunye n’okukakasa nti ddala ali mu kintu ng’enjogera y’ennaku zino, Onyango yakyusizza n’ekifaananyi ky’abadde akozesa ku nnamba ye eya WhatsApp (Profi le picture) n’awanikayo eky’ababiri (ng’ali n’omumbejja) buli muntu kati kw’atuusizza amaaso.

MMENGO EYOGEDDE

Omwogezi w’Obwakabaka era Minisita w’amawulire e Mmengo, Noah Kiyimba bwe yatuukiriddwa ku nsonga eno yategeezezza nti ensonga eno nkulu ddala era Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga y’alina okufulumya obubaka obutongole obugikwatako eri Obuganda.