Abasiraamu basomeseddwa ku nkola ya bbanka y'Obusiraamu

By Musasi wa Bukedde

Sheikh Yakubu Manaafa omukugu mu bya Islamic Banking, yalabudde ba Sheikh okukuuma eby'obugagga bye balina ng’ettaka n'ategeeza nti mu nkola eno alina eby'obugagga ng’ettaka aganyulwa kinene.

Sheiks 350x210

Bya JAMES MAGALA


ABAKULEMBEZE  b'Obusiraamu mu munisipaali y'e Nakawa basomeseddwa ku nkola ya Bbanka eddukanyizibwa ku musingi gw'Obusiraamu eya Islamic Banking ng’erimu ku makubo agateekwa okuyitibwamu okulwanyisa obwavu mu Bannayuganda.

Sheikh Yakubu Manaafa omukugu mu bya Islamic Banking, yalabudde ba Sheikh okukuuma eby'obugagga bye balina ng’ettaka n'ategeeza nti mu nkola eno alina eby'obugagga ng’ettaka aganyulwa kinene.

Ye Loodi Meeya wa Kampala, Ssaalongo Erias Lukwago yasinzidde mu musomo guno n'akuutira ba Sheikh bonna mu ggwanga okubeera abeerufu mu buweereza bwe baliko n'abawa amagezi okussa essira ku nsonga y'embalirira mu buli kye bakola.

Lukwago yagambye nti Abasiraamu balina okusoomozebwa okutali kumu ng’agamba ensonga zonna zeetoololera ku nsonga ya bwerufu n'abasaba okwetereeza.

Wano Lukwago yawaddeyo 500,000/- zigende mu nsawo ya ba Immam abeegattira mu kibiina kyabwe ekya Nakawa, Immam Development Association era n'akuutira ba Sheikh okwenyigira mu mirimu egitali gimu okweggya mu bwavu.