Munnamawulire James Kunobwa afudde agasizza eggwanga

By Musasi wa Bukedde

Bannayuganda mu Amerika basiimye omugenzi James Kunobwa eyali Sipiika wa Disitulikiti y’e Mukono

Kunobwa4 350x210

Ab’oluganda, emikwano ne Bannayuganda abalala mu Amerika basiimye emirimu omugenzi James Kunobwa gy’akoledde Disitulikiti y'e Mukono n’eggwanga lyonna okutwaliza awamu ne bagamba nti agasizza eggwanga kwe kusaba n’abalala bamuyigireko.

Mu kusaba okwenjawulo okwabadde ku kkanisa ya Rivers Of Life Assembly International ekulemberwa Omutume Dr. David Kunobwa (mutabani w’omugenzi) ne mukyala we Pasita Ritabella Kunobwa okwetabiddwako Bannayuganda okuva mu massaza g’omu Amerika ag’enjawulo,

 mugenzi unobwa Omugenzi Kunobwa

Beebaza Katonda olw’emirimu emirungi gy’amukozesezza era wano  Omutume Dr. David Kunobwa yagambye taata we ng’ogyeko okuwereeza eggwanga mu by’obufuzi, ayambye abantu okwekulaakulaanya era yakola omulimu gwa maanyi mu kuzimba kkanisa ez’enjawulo mu kitundu kye ng’ayita mu kubasakira obuyambi.

Kunobwa eyaliko omusomi w’amawulire ku Radio Uganda ne UTV mu myaka gya 1970 azikiddwa leero, yafa ku Ssande oluvannyuma lwa puleesa okumukuba n’asannyalala okumala wiiki ssatu

 mutume r avid unobwa ne mukyala we Omutume Dr. David Kunobwa ne mukyala we

Lumu bwe yali ayogerako ne Bukedde yategeeza nti, y'omu ku bakaawonawo abaasimattuka okuttibwa eyaliko Pulezidenti Amin bwe baamulumba mu sityudiyo okumutta nga bamulanga okusoma amawulire g'okufa kw’eyali Ssaabalabirizi wa Uganda, Janan Luwum era bwatyo yeekweka mu emu ku mmeeza  n'asimattuka kyokka ttivvi ne leediyo ne biggyibwako. 

Kunobwa eyali Sipiika wa Disitulikiti y’e Mukono yamala ebisanja bibiri okuva mu 2006 okutuuka 2016 ng’akiikirira ggombolola y'e Nagojje ku lukiiko lwa Disitulikiti y'e Mukono era n’aweebwa n'obukubiriza bwa Disitulikiti bwe yamalako ebisanja bibiri. 

 bamu kubeetabye mu kusaba Abamu kubeetabye mu kusaba.

Ajja kujjukirwa okusakira abalonzi be bwe yakulemberamu okuperereza Gavumenti okuzimba ettendekero lya Namataba Techinical Institute kati eryafuuka Limkwong University, era nga likyusizza embeera y'ekitundu.