Abadde aduumira ab'ewa Kisekka okwekalakaasa bamuyiyeemu emmotoka n'ayogeza ebirime

By Musasi wa Bukedde

Sipapa ne Full Figure olwavudde ewa Museveni, baagenze butereevu ewa Kisekka Sipapa gye yagabidde eyabadde akulira ab’ewa Kisekka mu kwekalakaasa, Ronald Kasekende emmotoka kika kya Toyota Raum UBE 702G.

Simba 350x210

Sipapa ne Full Figure olwavudde ewa Museveni, baagenze butereevu ewa Kisekka Sipapa gye yagabidde eyabadde akulira ab’ewa Kisekka mu kwekalakaasa, Ronald Kasekende emmotoka kika kya Toyota Raum UBE 702G.

Kasekende olwafunye emmotoka, yatandikiddewo okulabula bannabyabufuzi bonna abali ku ludda oluvuganya Gavumenti obutaddamu kulinnya kigere wa Kisekka kubanga bbo baakoowa entalo kati baagala kukola ssente.

Okugabira Kasekende emmotoka n’asala eddiiro kyatabudde banne bwe bakolera mu katale ewa Kisekka ne bakubisa ekipande ekinene nga balaga nti bbo tebawagira NRM, bali mabega wa Bobi Wine mu kalulu ka 2021.

 

Kasekende yagambye nti, wabaddewo emmotoka ssatu, Toyota Mark X, Toyota Harrier Kawundo ne Toyota Raum n’alondako Raum. Oluvannyuma, Full Figure ng’ali ku lediyo emu mu Kampala yategeezezza nti, eky’ewa Kisekka kyawedde, okuva lwe baagenzeeyo bonna abaabadde ku ludda oluvuganya Gavumenti baakyuse kati ba NRM.

Brian Ssemanda eyakulembeddemu abavubuka abatakkanya ne Gavumenti yategeezezza nti, Kasekende baali baamulimbalimba dda n’obusente n’akyuka n’atandika okuwagira NRM nti kyokka ali yekka bbo bafiira ku Bobi Wine.

Ono yagasseeko nti, Pulezidenti Museveni ssente ze yawadde Full Figure ne Sipapa za muwi wa musolo ateekeddwa okulondoola ensaasaanya yaazo n’abantu be yazigabidde abateeke ku nninga bamulage bye bazikozeemu.

“Amalwaliro mangi temuli ddagala, abavubuka basiiba ku nguudo tebalina mirimu, ssente ezandibadde zibayamba n’okuteeka eddagala mu malwaliro pulezidenti yazikutte n’aziwa Full Figure ne Sipapa! Twagala alondoole bye zikoze.” Ssemanda bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, Kasekende gwe baawadde emmotoka bamulinako emisango kubanga yakubye bannaabwe babiri amayinja omu ne limukwata okugulu ate omulala lyamukutte ku mutwe era akyali mu ddwaaliro.

Ekibinja kya Ssemanda kyabaddemu abavubuka okwabadde Paul Kafeero, Ramadhan Makumbi, Rashid Sseggujja, Yassin Ssekitooleko amanyiddwa nga Machete, Denis Ssenono n’abalala abaalayidde okufaafagana n’aba NRM abaagala okubalinnyirira.