Sipapa naye asisinkanye ab'akatale k'e Nakawa n'abawayiwamu bukadde

By Musasi wa Bukedde

Sipapa naye asisinkanye ab'akatale k'e Nakawa n'abawayiwamu bukadde

Whatsappimage20191108at145034 350x210

Sipapa ng’amannya ge amatuufu ye Charles Olimu okugaba emmotoka, waabadde waakayita ennaku mbale nga yaakava ewa Pulezidenti Museveni ng’ali ne Jenifer Nakangubi amanyiddwa nga Full Figure.

Sipapa ne Full Figure olwavudde ewa Museveni, baasibidde wa Kisekka ku Lwokutaano gye baakubye olukuhhaana era Sipapa n’ayita Kasekende n’amutwala ewuwe n’amulagira alonde emmotoka gy’ayagala ku mmotoka ssatu ezaabaddewo.

 

Olwavudde eyo n'agenda e Nakawa gye yasisinkanidde abavubuka n'abakyala abakolera mu butale era nga yoseekedde mu katale k'e Nakawa gye sisinkanidde abavubuka n'abakyala abasukka mu 1000.

Ono baamusindidde ennaku omuli obutaba na we bakolera, esente entono n'ebizibu ebirala era mu nsawo yaabwe yataddemu obukadde bitaano basooke bafune ebifo mu butale n'abalala emidaala mwe bakolera.