Tamale Mirundi ayogedde ku bya ssente za Museveni: 'Pulezidenti takyalina bwesige mu bakulembeze ba NRM'

By Musasi wa Bukedde

Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’amawulire, Tamale Mirundi yagambye nti, kino Museveni kye yakoze si kipya n’agamba nti mu nkola ya demokulase ebintu bwe biti bibeeramu.

Musevenisgovtisfullofliarstamalemirundi640381 350x210

Yagasseeko nti, Museveni kyakola kyonna, akikola kwenyweza mu maaso gy’alaga n’agamba nti kati okutuuka ewa Pulezidenti, olina kuyitira mu Kusasira ekintu ekiraga nti, talina bwesige bwonna mu bakulembeze ba NRM mu Kampala n’emiriraano.

“Museveni mugezi yakirabye nti, okusigala nga wa maanyi alina kuteekawo bantu balala abaawukana ku kibiina kya NRM ate abantu kye balina okumanya ebyobufuzi tebyetaaga buyigirize bwa maanyi, ekyetaagisa kukuhhaanya bantu.” Mirundi bwe yategeezezza.