Balam naye akaaba lumaamiro: Agamba amaze ebbanga lya myaka etaano ng’akola emirimu gya NRM naye tasasulwa

By Musasi wa Bukedde

Wadde Kusasira, Buchaman, Full Figure ne Sipapa abaagenze ewa Museveni boogeza maanyi, ye Balam akyakaaba lumaamiro1 Agamba amaze ebbanga lya myaka etaano ng’akola emirimu naye tasasulwa era abanja ssente eziri mu buwumbi

Maxresdefault 350x210

Wadde bbo abaakagenda ewa Pulezidenti Museveni baavuddeyo boogeza maanyi ne batandika n’okusaasaanya ku ssente, ye Ssaabavvulu Balam Barugahare yagambye nti amaze ebbanga lya myaka etaano ng’akola emirimu naye tasasulwa era abanja ssente eziri mu buwumbi.

Yasabye abantu abagenda gy’ali nga bamusaba ssente okukikomya kubanga talina ssente zonna ze bamuwa kuwa bantu ng’abamu bwe balowooza. Yagambye nti, abantu bwe bamulaba ng’awagira Pulezidenti Museveni mu lujjudde balowooza alina omusimbi gw’amupokera ekitali kituufu.

Yagasseeko nti, Pulezidenti Museveni okulonda abayimbi ne bannakatemba ku ttiimu ye, ayagala bamuyambeko okukunga abantu bamuwagire n’agamba nti, ye ayagala ekibiina kye ekya NRM si lwa ssente wabula lwa mutima gwa ggwanga.

Betty Muhaye abasinga gwe baakazaako erya Maama Janet yasabye Pulezidenti Museveni ateekewo ofiisi omuntu wa wansi mw’asobola okuyisa ensonga z’ayagala zituuke ewa Pulezidenti.

Muhaye yagambye nti, akoze ebintu bingi ku lwa NRM omuli n’okukuuma akalulu, okutimba ebipande, okukuyega abantu, okwogerera NRM ku leediyo ezitali zimu, yeetabye ku mikolo ku lwa NRM naye awo w’akoma, talina ngeri yonna gy’atuusaamu ddoboozi lye wa Pulezidenti ne bwe bawandiika ebbaluwa zikoma mu kkubo. Yagambye nti, Pulezidenti yali amusuubizza okumulaba nga November 1, 2019 wabula tekyasobose.