Aba Owino bakwatiddwa lwa ssente za Museveni

By Musasi wa Bukedde

Ssente tezitabudde bannabyabufuzi n’abayimbi bokka, wabula n’abasuubuzi mu butale naddala aka St. Balikuddembe zibazaalidde ebizibu era basatu abagambibwa okuzeekomya poliisi yabakutte bayambeko mu kunoonyereza kwa poliisi.

Godi 350x210

Kino kiddiridde obutali bumativu n’okwemulugunya okuva mu basuubuzi abaakulembeddwa Suzan Tushabe akulembera abakyala ba Cooperative ekikulemberwa John Baptist Kivumbi okuvaayo ne balumiriza abakulembeze b’ekibina kino okuli; Joseph Lwanga ne Hamza Rwendeye okwezza ezimu ku nsimbi obukadde 250 ezabaweebwa Museveni.

Tushabe yagambye nti, ku bukadde 250 ezabawebwa Museveni, abakulembeze beegabanyaako obukadde 100 nga beefudde abagenda okusuubulira abasuubuzi b’akatale kano emmaali omuli; kawo, omuceere n’ebijanjaalo mu kifo ky’okuziteeka mu SACCO y’abasuubuzi bazeewole zizaale amagoba.

Kyokka Lwanga ne Rwendeye basambajja ebyogerwa abasuubuzi nga bagamba nti baatuula nabo mu ttabamiruka w’ekibiina kyabwe ne bakkaanya ssente baziwe ba ajenti okuli ne Rwendeye basuubule emmaali olwo abasuubuzi bagiggye nga ku bbo bwe batunda bazzeeyo ezaasuubudde amagoba bagasigaze.

Ssente endala obukadde 150, baagambye nti baasalawo baziteeke mu SACCO ne balaga n’empapula kwe baagambye nti kwe babadde bawolera abasuubuzi mu SACCO yaabwe.

Wabula ku Lwokubiri nga November 5, 2019 abaserikale okuva ku kitongole kya poliisi ekikola oku kunoonyereza okw’enjawulo ekya Special Investigations Division (SID) e Kireka baayise Lwanga, Rwendeye n’omu ku bammemba ba Cooperative, Sam Ssemakula ne babaggalira okumala ekiseera nga bwe bababuuza akana n’akataano, wabula oluvannyuma ne bayimbulwa ku kakalu ka poliisi.