‘Aba DP baagala AIGP Bangirana ave mu ofiisi

By Eria Luyimbazi

ABAVUBUKA b’ekibiina kya DP aba UYD balemedde ku akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okugula ebikozesebwa mu poliisi AIGP Godfrey Bangirana nga baagala asooke ave mu ofiisi kubanga kontulakiti ye yaggwaako.

Bangirana 350x210

Isaac Maddo eyatekaayo omusango guno ng’ayita mu looya we, David Mushabe asabye omulamuzi Henrietta Wolayo okuyisa ekiragiro ekiyimiriza Bangirana okutuusa omusango guno lwe gunaggwa.

Bangirana teyazze mu kkooti wabula Josephine Kiyingi eyakiikiridde Ssaabawolereza wa gavumenti yawakanyizza okusaba kwa Maddo n’agamba nti waliyo ebbaluwa okuva ewa Mutambi eragira Bangirana okusigala mu ofiisi.

Wabula ate omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ensonga ezoomunda mu Dr. Benon Mutambi yategeezezza nti yamuwandiikira ebbaluwa emulagira okusigala mu ofiisi eno wadde nga kontulakiti ye yali eweddeko.

Julius Kirya looya wa Maddo yategeezezza nti ekitongole kya poliisi kye kirina okugaba emirimu mu poliisi so si Mutambi, noolwekyo ofiisi eyo agirimu mu bukyamu nga n’omusaala afuna ekibi eri abawi b’omusolo.

Yayongeddeko nti waliwo okunoonyereza kw’omubalirizi wa gavumenti okukwata ku Bangirana okumukugira okubeera mu kifo ekyo.