Takisi etomedde owabbooda ddereeva n'adduka

Mugoya yabadde atambuza ‘Ice Cream’, ku ppikippiki nnamba UDX 456E, takisi okumutomera yabadde asala oluguudo okudda ku ludda olulala. Ddereeva wa takisi ne kondakita olwamaze okukola akabenje ne badduka emmotoka ne bagireeka awo.

 Owa bbooda agudde wansi nga takisi yakamala okumukoona.

TAKISI   etomedde owabboodabooda n'emumenya okugulu.
 
Akabenje kaabadde Sseguku ku mayiro mukaaga ku luguudo lw'e Ntebe, takisi nnamba UAX 717A eyabadde eva e Ntebe ng'edda e Kampala bwe yalemeredde omugoba waayo n'etomera Benson Mugoya ow'e Kajjansi n'emumenya okugulu.
 
Mugoya yabadde atambuza ‘Ice Cream', ku ppikippiki nnamba UDX 456E, takisi okumutomera yabadde asala oluguudo okudda ku ludda olulala. Ddereeva wa takisi ne kondakita olwamaze okukola akabenje ne badduka emmotoka ne bagireeka awo. 
 
Poliisi y'e Kajjansi yayitiddwa n'egiggyawo nga bwe banoonyereza ekyavuddeko akabenje. Mugoya yatwaliddwa mu ddwaaliro okujjanjabibwa.