'Abeenyigira mu ttemu mwekube mu mutima'

By Ali Wasswa

Yagambye nti abeenyigira mu kutta abalala bakimanye nti Katonda ajja kubasasula nga bwe yakola ku Kaine eyatta muganda we Abel. Fr. Bukwasizehi yagambye nti ekyennaku ettemu lizzeemu okweraguza ng’abantu bwe bamala okutta bannaabwe baddukira mu basawo b’ekinnansi.

Mbarakuzi 350x210

BWANAMUKULU w’ekigo ky’e Rubindi, Fr. Felix Bukwasizehi yennyamidde olw’ettemu erifiiriddemu abantu baabwe n’asaba abalyenyigiramu okwekuba mu kifuba baliveeko.

Yabadde mu kusabira  omusuubuzi Pele Atwine ow’e Bukiro mu ggombolola y’e Bukiro mu disitulikiti y’e Mbarara.

Atwine yattibwa abantu abatannaba kutegeerekeka omulambo gwe ne bagusuula okumpi ne poliisi y’e Rwarire.

Yagambye nti abeenyigira mu kutta abalala bakimanye nti Katonda ajja kubasasula nga bwe yakola ku Kaine eyatta muganda we Abel. Fr. Bukwasizehi yagambye nti ekyennaku ettemu lizzeemu okweraguza ng’abantu bwe bamala okutta bannaabwe baddukira mu basawo b’ekinnansi.

Yawadde ekyokulabirako ky’abavubuka abaakwatibwa e Kazo ne bategeeza poliisi nti okwegatta ku kibinja kyabwe oteekwa okusooka okunywa ku musaayii gw’omuntu n’agamba nti embeera eno abanakuwaza.