Kadaga alabudde abakozesa obwana obuto

By Muwanga Kakooza

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana abato emirimu egy’obulabe eri obulamu bwabwe.

Kadaga 350x210

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana abato emirimu egy’obulabe eri obulamu bwabwe.

Kadaga agamba nti obwavu, obutasoma , entalo n’obutabanguko mu maka y’ensibuko y’abaana okukozesebwa emirimu, olumu egibalemesa n’okusoma. N’agamba bino bivaako abaana olumu obutasoma ne badda mu kwenyigira mu by’obulimi, ffamire zaabwe zisobole okufuna ku ssente n’olumu okubasindika okukola obwahawusi ggaalo mu kifo ky’okusoma.

Yagambye nti abaana olumu be beenyigira mu kukola emirimu egy’okwenoonyeza ffiizi olw’obwavu bw’abazadde.

Bino yabyogeredde mu lukung’aana lw’aba Ssaabalamuzi  mu nsi yonna olwatudde  e Lucknow mu Buyindi.

Kadaga yagambye nti kyetaaga okwawula abakozesa abaana emirimu gy’okubasasula ensimbi ekintu ekikontana n’amateeka n’abo abakozesa emirimu gya waka.

N’agamba nti bino byonna birina okussibwa mu mateeka emirimu egitalina kukolebwa mwana gyawulwe bulungi.

Bassaabalamuzi basabiddwa okutegeeza gavumenti zaabwe okussaawo embeera eneekaka amasomero  okutandika okusomesa abayizi emisomo egikwata ku kukuuma emirembe n’abantu okuguminkiriziganya mu by’obuwangwa